Ezekyeri Chapter 9

For English

Read Ezekyeri Chapter 9 Online

Read Ezekyeri Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 9

Essuula 9

1. Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange ng'ayogera nti Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.

2. Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obwa kkono, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye ekitta mu mukono gwe; n'omusajja omu wakati mu bo ayambadde bafuta ng'alina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.

3. Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali okutuuka ku mulyango ogw'ennyumba: n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe kya bwino eky'omuwandiisi mu kiwato.

4. Awo Mukama n'amugamba nti Genda oyite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolerwa wakati mu kyo.

5. N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti Mmwe muyite mu kibuga nga mumuvaako ennyuma mufumite: eriiso lyammwe lireme okusonyiwa so temubanga na kisa:

6. muttire ddala omukadde n'omulenzi n'omuwala n'abaana abato n'abakazi: naye temusembereranga muntu yenna aliko akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba

7. N'abagamba nti Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya abattibwa: mufulume. Awo ne bafuluma ne bafumitira mu kibuga.

8. Awo olwatuuka bwe baali nga bafumita nange nga nsigaddewo, ne nvuunama amaaso gange ne nkaaba ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kye ku Yerusaalemi?

9. Awo n'aŋŋamba nti Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde okulya ensonga: kubanga boogera nti Mukama yaleka ensi, so Mukama talaba.

10. Era nange eriiso lyange teririsonyiwa so sirisaasira, naye ndireeta ekkubo lyabwe ku mutwe gwabwe.

11. Kale, laba, omusajja ayambadde bafuta eyalina ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo ng'ayogera nti Nkoze nga bw'ondagidde.

About Ezekyeri Chapter 9

Read Ezekyeri Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 9?

Ezekyeri Chapter 9 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 44
  2. Ezekyeri Chapter 34
  3. Ezekyeri Chapter 32
  4. Ezekyeri Chapter 30
  5. Ezekyeri Chapter 40
  6. Ezekyeri Chapter 42
  7. Ezekyeri Chapter 28

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 17
  2. Yobu Chapter 30
  3. Zeffaniya Chapter 1
  4. 1 Samwiri Chapter 3
  5. Zabbuli Chapter 43
  6. Yobu Chapter 8
  7. 1 Samwiri Chapter 6
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *