Isaaya Chapter 2

For English

Read Isaaya Chapter 2 Online

Read Isaaya Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 2

Essuula 2

1. Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi kye yalaba ku Yuda ni Yerusaalemi.

2. Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y'ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.

3. Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.

4. Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.

5. Mmwe ennyumba ya Yakobo mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.

6. Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga.

7. Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma.

8. Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola.

9. Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa.

10. Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe;

11. Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.

12. Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa:

13. n'eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egya Basani;

14. n'eri ensozi zonna empanvu, n'eri obusozi bwonna obugulumizibwa;

15. n'eri buli kigo ekiwanvu, n'eri buli bbugwe aliko ekkomera;

16. n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna eby'okwesiima.

17. Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.

18. N'ebifaananyi biriggweerawo ddala.

19. Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.

20. Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby'effeeza n'ebifaananyi bye eby'ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n'eri ebinyira;

21. bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.

22. Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki?

About Isaaya Chapter 2

Read Isaaya Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 2
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 2?

Isaaya Chapter 2 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 52
  2. Isaaya Chapter 12
  3. Isaaya Chapter 33
  4. Isaaya Chapter 34
  5. Isaaya Chapter 19
  6. Isaaya Chapter 32
  7. Isaaya Chapter 28

Related Chapters & Readings

  1. 1 Samwiri Chapter 14
  2. Zabbuli Chapter 93
  3. 1 Ebyomumirembe Chapter 29
  4. Okubala Chapter 1
  5. Ezekyeri Chapter 1
  6. Ezekyeri Chapter 27
  7. Yoswa Chapter 11
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *