Read Olubereberye Chapter 13 Online
Read Olubereberye Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 13
Essuula 13
1. Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo.
2. Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu.
3. N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiika obwa ddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi;
4. mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye: Ibulaamu n'akaabira eyo erinnya lya Mukama.
5. Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema.
6. Ensi n'etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n'okuyinza ne batayinza kutuula wamu.
7. Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo.
8. Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda.
9. Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange naagenda ku mukono ogwa kkono.
10. Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali.
11. Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n'atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka.
12. Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma.
13. N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama.
14. Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba:
15. kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigiwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna.
16. Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lyo liribalika.
17. Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n'obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe.
18. Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule, egiri mu Kebbulooni, n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama.
About Olubereberye Chapter 13
Read Olubereberye Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 13
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 13?
Olubereberye Chapter 13 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 34
- Olubereberye Chapter 42
- Olubereberye Chapter 19
- Olubereberye Chapter 9
- Olubereberye Chapter 30
- Olubereberye Chapter 10
- Olubereberye Chapter 29