Makko Chapter 8

For English

Read Makko Chapter 8 Online

Read Makko Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Makko and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Makko 8

Essuula 8

1. Awo mu nnaku ezo, ebibiina bwe byayinga obungi nate, ne bataba na mmere, n'ayita abayigirizwa be n'abagamba nti

2. Nsaasira ebibiina, kubanga leero ennaku ssatu nga bali nange, so tebalina mmere;

3. bwe mbasiibula okuddayo nga basiibye enjala, banaazirikira mu kkubo; n’abamu bava wala.

4. Abayigirizwa be ne bamuddamu nti Omuntu anaayinza atya okukkusa abantu bano emigaati wano mu ddungu?

5. N'ababuuza nti Mulina emigaati emeka? Ne bamugamba nti Musanvu.

6. N'alagira ebibiina okutuula wansi: n'addira emigaati omusanvu, ne yeebaza, n'amenyamu, n’awa abayigirizwa be, okugissa mu maaso gaabwe; ne bagissa mu maaso g'ekibiina.

7. Era baali balina obw'ennyanja butono: n'abwebaza, n’alagira n'obwo okubussa mu maaso gaabwe.

8. Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo ebisero musanvu.

9. Baali ng'enkumi nnya: n'abasiibula.

10. Amangu ago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'ajja ku njuyi ez'e Dalumanusa.

11. Abafalisaayo ne bafuluma ne bajja, ne batanula okumusokaasoka, nga banoonya gy'ali akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.

12. N'asinda nnyo mu mwoyo gwe, n’agamba nti ab'Emirembe gino banooyeza ki akabonero? mazima mbagamba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero.

13. N'abaleka, n'asaabala nate n'agenda emitala w'eri.

14. Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebaali nagyo mu lyato wabula omugaati gumu.

15. N'abakuutira ng'agamba nti Munywere, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n’ekizimbulukusa kya Kerode.

16. Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Tetulina migaati.

17. Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Kiki ekibeebuuzaganyisa olw'obutaba na migaati? temunnalaba, so temutegeera? emitima gyammwe mikakanyavu?

18. Mulina amaaso, temulaba? mulina amatu, temuwulira? so temujjukira?

19. Bwe nnameyera enkumi ettaano emigaati etaano, ebibbo bimeka ebyajjula obukunkumuka bye mwakuŋŋaanya? Ne bamugamba nti Kkumi na bibiri.

20. Era bwe nnamenyera omusanvu enkumi ennya, mwakuŋŋaanya ebisero bimeka ebyajjula obukunkumuka? Ne bamugamba nti Musanvu.

21. N'abagamba nti Temunnategeera?

22. Ne bajja ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuzibe w'amaaso, ne bamwegayirira okumukomako.

23. N'akwata omuzibe w'amaaso ku mukono, n'amufulumya ebweru w'embuga; awo bwe yawanda amalusu ku maaso ge, n'amussaako engalo, n'amubuuza nti Oliko ky'olaba?

24. N'atunula waggulu, n'agamba nti Ndaba abantu, kubanga ndaba bafaanana ng'emiti, nga batambula.

25. Ate n'amussa engalo ku maaso ge n'akanula okulaba, n'awona, n'alaba byonna bulungi.

26. N'amusindika ewuwe, ng'amugamba nti Toyingiranga mu mbuga muno.

27. Yesu n'asitula n'agenda n'abayigirizwa be mu mbuga z'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuuka mu kkubo n'abuuza abayigirizwa be, n'abagamba nti Abantu bampita ani?

28. Ne bamugamba nti Yokaana Omubatiza: n'abalala nti Eriya: naye abalala nti Omu ku bannabbi.

29. Ye n'ababuuza nti Naye mmwe mumpita ani? Peetero n'addamu n'amugamba nti Ggwe Kristo.

30. N'abakomako baleme okubuulirako omuntu ebigambo bye.

31. N'atanula okubayigiriza nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu, n'abawandiisi, n'okuttibwa, n'okuyitawo ennaku essatu okuzuukira.

32. N'ayogera ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atanula okumunneya.

33. Naye n'akyuka, n'alaba abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'agamba nti Dda ennyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.

34. N'ayita ebibiina n'abayigirizwa be, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.

35. Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n'olw'enjiri alibulokola.

36. Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n'okufiirwa obulamu bwe?

37. Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?

38. Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.

About Makko Chapter 8

Read Makko Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Makko
Chapter: 8
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Makko. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Makko Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Makko Chapter 8?

Makko Chapter 8 is part of the Book of Makko in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Makko Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 13
  3. Ebikolwa Chapter 3
  4. Ebikolwa Chapter 8
  5. Ebikolwa Chapter 27
  6. Ebikolwa Chapter 11
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from makko

  1. Makko Chapter 14
  2. Makko Chapter 13
  3. Makko Chapter 11
  4. Makko Chapter 10
  5. Makko Chapter 7
  6. Makko Chapter 1
  7. Makko Chapter 9

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 6
  2. Ekyamateeka Chapter 13
  3. Ezekyeri Chapter 7
  4. Ezekyeri Chapter 42
  5. 2 Samwiri Chapter 10
  6. Ebikolwa Chapter 24
  7. Ekyamateeka Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *