Read Isaaya Chapter 7 Online
Read Isaaya Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 7
Essuula 7
1. Awo olwatuuka ku mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w'e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa.
2. Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n'omutima gw'abantu be, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa n'empewo.
3. Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu we lukoma, mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye;
4. omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; totya, so n'omutima gwo teguzirikanga olw'emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw'obusungu obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obw'omwana wa Lemaliya.
5. Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n'omwana wa Lemaliya, nga boogera nti
6. Twambuke tulumbe Yerusaalemi, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, omwana wa Tabeeri:
7. bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Tekirinywera so tekirituukirira.
8. Kubanga omutwe gw'Obusuuli ye Ddamasiko n'omutwe gw'e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n'etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga:
9. n'omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n'omutwe gw'e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.
10. Awo Mukama n'agamba nate Akazi nti
11. Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu.
12. Naye Akazi n'ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama.
13. N'ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era?
14. Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi era alituumwa erinnya lye Imanueri.
15. Omuzigo n'omubisi gw'enjuki alibirya, bw'amanya okugaana ebibi, n'okweroboza ebirungi.
16. Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n'okweroboza ebirungi, ensi gy'okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa.
17. Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w'e Bwasuli.
18. Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby'ewala eby'emigga egy'e Misiri, n'enjuki eri mu nsi y'e Bwasuli.
19. Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw'omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna.
20. Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby'emitala w'omugga, ye Kabaka w'e Bwasuli, omutwe n'obwoya obw'oku bigere: era kalimalawo n'ekirevu.
21. Awo olulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n'endiga bbiri;
22. Awo olulituuka olw'amata amangi ge zirigabiza anaalyanga omuzigo: kubanga buli muntu an'alyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki aliba asigadde wakati mu nsi.
23. Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.
24. Balijjayo nga balina obusaale n'omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n'amaggwa.
25. N'ensozi zonna ze baalimanga n'enkumbi, tolituukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.
About Isaaya Chapter 7
Read Isaaya Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 7
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 7?
Isaaya Chapter 7 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 52
- Isaaya Chapter 46
- Isaaya Chapter 54
- Isaaya Chapter 15
- Isaaya Chapter 34
- Isaaya Chapter 37
- Isaaya Chapter 38