Read Lukka Chapter 14 Online
Read Lukka Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Lukka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Lukka 14
Essuula 14
1. Awo olwatuuka bwe yayingira ku ssabbiiti mu nnyumba y'omukulu w'Abafalisaayo omu okulya emmere ne bamulabirira.
2. Era, laba, waaliwo omuntu mu maaso ge, eyali alwadde entumbi.
3. Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?
4. Naye ne basirika. N'amukwatako n'amuwonya, n'amusiibula.
5. N'abagamba nti Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye ng'egudde mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku ssabbiiti?
6. Ne batayinza ate kumuddamu ebyo.
7. N'agerera olugero abo abaayitibwa bwe yalaba engeri gye beeroboza ebifo eby'okumwanjo; n'abagamba nti
8. Omuntu bw'akuyitanga ku mbaga ey'obugole, totuulanga mu kifo kya ku mwanjo, mpozzi waleme okubaawo akusinga ekitiibwa gw'ayise,
9. n’oli eyakuyise ggwe naye n'ajja, n'akugamba nti Segulira ono; n'olyoka otanula n'ensonyi okutwala ekifo eky'ennyuma.
10. Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'ennyuma, eyakuyise bw'anajjanga, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere.
11. Kubanga buli muntu yenna eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
12. Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; mpozzi baleme okukuyita nate nabo, ne wabaawo okukusasula.
13. Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso:
14. era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: kubanga olisasulirwa mu kuzuukira kw'abatuukirivu.
15. Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.
16. Naye n'amugamba nti waaliwo omuntu eyafumba embaga ennene; n'ayita bangi:
17. n'atuma omuddu we obudde obw'embaga nga butuuse okugamba bali abayitiddwa, nti Mujje; kubanga bimaze okutegekebwa.
18. Bonna n'emmeeme emu ne batanula okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.
19. N'omulala n'agamba nti Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzikema; nkwegayiridde nsonyiwa.
20. N'omulala n'agamba nti Mpasizza omukazi, kyennaava nnema okuyinza okujja.
21. Awo omuddu oyo n'ajja n'abuulira mukama we ebyo. Awo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.
22. Omuddu n'agamba nti Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebbanga.
23. Mukama we n'agamba omuddu nti Fuluma ogende mu makubo ne mu bukubo, obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule.
24. Kubanga mbagamba nti Bali abaayitibwa, tewali n'omu alirega ku mbaga yange.
25. Awo ebibiina binene byali bigenda naye; n'akyuka n'abagamba nti
26. Omuntu bw'anajjanga gye adi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
27. Buli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
28. Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala?
29. Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi bw'atayinza kugimaliriza, bonna abalaba batanula okumusekerera,
30. nga bagamba nti Omuntu ono yasooka okuzimba n'atayinza kumala.
31. Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasookakutuula n'ateesa ebigambo, oba ng'ayinza n'akakumi okusisinkana n'oli amujjira n'obukumi obubiri?
32. Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyaali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana.
33. Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
34. Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki?
35. Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
About Lukka Chapter 14
Read Lukka Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Lukka
Chapter: 14
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Lukka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Lukka Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Lukka Chapter 14?
Lukka Chapter 14 is part of the Book of Lukka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Lukka Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from lukka
- Lukka Chapter 11
- Lukka Chapter 17
- Lukka Chapter 5
- Lukka Chapter 7
- Lukka Chapter 19
- Lukka Chapter 21
- Lukka Chapter 22