Yoweeri Chapter 1

For English

Read Yoweeri Chapter 1 Online

Read Yoweeri Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoweeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yoweeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yoweeri 1

Essuula 1

1. Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

2. Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe?

3. Mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe emirala.

4. Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde.

5. Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe.

6. Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu.

7. Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru.

8. Kungubaga ng'omuwala ey'esibye ebibukutu bw'akungubagira bba ow'omu buwala bwe.

9. Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddiwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala.

10. Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera.

11. Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bifudde.

12. Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu.

13. Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe.

14. Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama.

15. Zitusanze olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.

16. Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe?

17. Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose.

18. Ensolo nga zisinda! amagana g'ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by'endiga birekeddwawo.

19. Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.

20. Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu.

About Yoweeri Chapter 1

Read Yoweeri Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoweeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yoweeri
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yoweeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yoweeri Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yoweeri Chapter 1?

Yoweeri Chapter 1 is part of the Book of Yoweeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yoweeri Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 12
  3. Engero Chapter 25
  4. Engero Chapter 22
  5. Engero Chapter 19
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 28

Explore More from Yoweeri

  1. Yoweeri Chapter 2
  2. Yoweeri Chapter 3

Related Chapters & Readings

  1. 1 Peetero Chapter 3
  2. Ezekyeri Chapter 32
  3. Yeremiya Chapter 27
  4. Abaggalatiya Chapter 5
  5. Yakobo Chapter 5
  6. Zeffaniya Chapter 2
  7. Abaebbulaniya Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *