Read Mikka Chapter 5 Online
Read Mikka Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Mikka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Mikka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Mikka 5
Essuula 5
1. Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba oluyi omulamuzi wa Isiraeri n'omuggo.
2. Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.
3. Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri.
4. Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi.
5. Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaffe, bw'alitambula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa.
6. Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe.
7. Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
8. Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi.
9. Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire.
10. Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
11. era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;
12. era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate;
13. era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo.
14. Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.
15. Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.
About Mikka Chapter 5
Read Mikka Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Mikka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Mikka
Chapter: 5
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Mikka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Mikka Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Mikka Chapter 5?
Mikka Chapter 5 is part of the Book of Mikka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Mikka Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16