Read Engero Chapter 4 Online
Read Engero Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 4
Essuula 4
1. Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Mutegenga amatu okumanya okutegeera:
2. Kubanga mbawa okuyiga okulungi; Temuvanga mu tteka lyange.
3. Kubanga nali mwana eri kitange, Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange.
4. Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
5. Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange:
6. Togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulindanga.
7. Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: Weewaawo funanga okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga.
8. Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga.
9. Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo: Galikugabira enkuufiira ey'obulungi.
10. Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi.
11. Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi; Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu.
12. Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga; Era bw'onoddukanga teweesittalenga.
13. Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14. Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
15. Olwesambanga, toluyitangako; Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.
16. Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.
17. Kubanga balya emmere ey'obubi, Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo.
18. Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.
19. Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza: Tebamanyi ekibeesittaza.
20. Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Teganga okutu eri okwogera kwange.
21. Tebivanga ku maaso go; Bikuumirenga wakati mu mutima gwo.
22. Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.
23. Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu.
24. Weggyengako akamwa akabambaavu, N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo.
25. Amaaso go galuŋŋamirenga ddala, N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo.
26. Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga.
27. Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.
About Engero Chapter 4
Read Engero Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 4
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 4?
Engero Chapter 4 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
Explore More from engero
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 8
- Engero Chapter 20
- Engero Chapter 29
- Engero Chapter 5
- Engero Chapter 26
- Engero Chapter 27