Read Ezekyeri Chapter 12 Online
Read Ezekyeri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ezekyeri 12
Essuula 12
1. Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera nti
2. Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba eyo enjeemu abalina amaaso ag'okulaba so tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nnyumba njeemu.
3. Kale, ggwe omwana w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋŋanguse, ositule okusenguka misana bo nga balaba; era olisenguka mu kifo kyo n'odda mu kifo ekirala bo nga balaba: mpozzi balirowooza, newakubadde nga nnyumba njeemu.
4. Era oliggyamu ebintu misana bo nga balaba, ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse: era olivaamu wekka akawungeezi bo nga balaba, ng'abantu bwe bavaamu abagobebwa ewaabwe.
5. Sima ekisenge bo nga balaba, oyiseemu ebintu.
6. Bisitulire ku kibegabega kyo bo nga balaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.
7. Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: naggyamu ebintu byange emisana ng'ebintu eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ne mbiggyamu ekizikiza nga kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bo nga balaba.
8. Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9. Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti Okola ki?
10. Bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri be balimu.
11. Yogera nti Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa ewaabwe okugenda mu busibe.
12. N'omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye ekizikiza nga kikutte n'afuluma; balisima mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka ku maaso ge, kubanga taliraba ttaka n'amaaso ge.
13. Era ndimusuulako ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikiraba, newakubadde ng'alifiira eyo.
14. Era ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era ndisowola ekitala ekiribagoberera.
15. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.
16. Naye ndirekawo ku bo abasajja batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke babuulirenga emizizo gyabwe gyonna mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga nze Mukama.
17. Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
18. Omwana w'omuntu, lya emmere yo ng'okankana, onywe amazzi ng'ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab'omu nsi, nti
19. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekebwewo byonna ebirimu olw'ekyejo ky'abo bonna abatuulamu.
20. N'ebibuga ebibeerwamu birizisibwa, n'ensi eriba matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.
21. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
22. Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti Ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula?
23. Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikomya olugero olwo, so tebalirugera nate mu Isiraeri okuba olugero; naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, n'okutuukiriza buli kwolesebwa.
24. Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa okw'obwereere newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri.
25. Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ai ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.
26. Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
27. Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.
28. Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
About Ezekyeri Chapter 12
Read Ezekyeri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ezekyeri
Chapter: 12
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ezekyeri Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ezekyeri Chapter 12?
Ezekyeri Chapter 12 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Ezekyeri
- Ezekyeri Chapter 1
- Ezekyeri Chapter 31
- Ezekyeri Chapter 30
- Ezekyeri Chapter 41
- Ezekyeri Chapter 17
- Ezekyeri Chapter 35
- Ezekyeri Chapter 34