Okuva Chapter 3

For English

Read Okuva Chapter 3 Online

Read Okuva Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 3

Essuula 3

1. Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu.

2. Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira.

3. Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira.

4. Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno.

5. N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu.

6. N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda.

7. Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe;

8. era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi.

9. Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri.

10. Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.

11. Musa n'agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri?

12. N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno.

13. Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya?

14. Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.

15. Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.

16. Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri:

17. ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.

18. Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.

19. Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibalagira kugenda, weewaawo era n'omukono ogw'amaanyi.

20. Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago alibalagira.

21. Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere:

22. naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri.

About Okuva Chapter 3

Read Okuva Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 3
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 3?

Okuva Chapter 3 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 18
  2. Okuva Chapter 22
  3. Okuva Chapter 19
  4. Okuva Chapter 2
  5. Okuva Chapter 20
  6. Okuva Chapter 26
  7. Okuva Chapter 28

Related Chapters & Readings

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  2. Abaggalatiya Chapter 4
  3. Yoweeri Chapter 1
  4. Yeremiya Chapter 7
  5. Isaaya Chapter 5
  6. Yeremiya Chapter 17
  7. Ezekyeri Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *