Read Kaabakuuku Chapter 3 Online
Read Kaabakuuku Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Kaabakuuku in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Kaabakuuku and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Kaabakuuku 3
Essuula 3
1. Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi.
2. Ai Mukama, mpulidde ebigambo byo, n'entya: Ai Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira.
3. Katonda yajja ng'ava ku Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani (Seera) Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, Ensi n'ejjula ettendo lye.
4. N'okumasamasa kwe kwali ng'omusana; Yalina amayembe nga gava mu mukono gwe: Era omwo mwe mwali okukweka amaanyi ge.
5. Kawumpuli yatambula okumukulembera, Obusaale obw'omuliro ne bufuluma awali ebigere bye.
6. Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'agoba amawanga n'agasalamu: Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga obw'edda.
7. Nalaba eweema za Kusani nga zirabye ennaku: Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana.
8. Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?
9. Omutego gwo gwasowolerwa ddala; Ebirayiro bye walayirira ebika byali kigambo kya nkalakkalira. (Seera) Ensi wagyasaamu n'emigga:
10. Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo: Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'eyimusa emikono gyayo waggulu.
11. Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'okutangaala kw'obusaale bwo nga butambula, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
12. Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, N'owuula amawanga ng'oliko obusungu.
13. Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wafumita omutwe ogw'omu nnyumba y'omubi, Ng'oyerula omusingi okutuuka ne ku nsingo. (Seera)
14. Wafumita n'emiguma gye ye omutwe gw'abalwanyi be: Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya: Okusanyuka kwabwe kulya mwavu kyama:
15. Walinnya ennyanja n'embalaasi zo, Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi.
16. Nawulira, olubuto lwange ne lukankana, Emimwa gyange ne gijugumirira eddoboozi eryo; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: Mpummulire ku lunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirisanga abantu abamutabaala ebibiina.
17. Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, Ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, So nga tewali nte mu biraalo:
18. Era naye ndisanyukira Mukama, Ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange.
19. Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo byange ebigulumivu. Ya Mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
About Kaabakuuku Chapter 3
Read Kaabakuuku Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Kaabakuuku in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Kaabakuuku
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Kaabakuuku. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Kaabakuuku Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Kaabakuuku Chapter 3?
Kaabakuuku Chapter 3 is part of the Book of Kaabakuuku in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Kaabakuuku Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16