Koseya Chapter 8

For English

Read Koseya Chapter 8 Online

Read Koseya Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Koseya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Koseya 8

Essuula 8

1. Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng'empungu bw'atyo bw'ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange.

2. Balinkaabira nti Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi.

3. Isiraeri asudde ekirungi: omulabe alibayigganya.

4. Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi; beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo.

5. Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n'obutayonoona?

6. Kubanga n'ekyo kivudde mu Isiraeri; omukozi ye yakikola, so si Katonda n'akatono: weewaawo, ennyana ya Samaliya erimenyekamenyeka.

7. Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n'okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala.

8. Isiraeri aliiriddwa ddala: kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko bwe kisanyusa.

9. Kubanga bambuse eri Obwasuli ng'entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi.

10. Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw'omugugu gwa kabaka w'abalangira.

11. Kubanga Efulayimu ayongedde ebyoto okuleeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eky'okuleeta okwonoona.

12. Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga.

13. Ssaddaaka ez'ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n'abonereza olw'ebibi byabwe; balidda mu Misiri.

14. Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n'azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.

About Koseya Chapter 8

Read Koseya Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Koseya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Koseya
Chapter: 8
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Koseya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Koseya Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Koseya Chapter 8?

Koseya Chapter 8 is part of the Book of Koseya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Koseya Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from koseya

  1. Koseya Chapter 4
  2. Koseya Chapter 9
  3. Koseya Chapter 5
  4. Koseya Chapter 14
  5. Koseya Chapter 7
  6. Koseya Chapter 13
  7. Koseya Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 33
  2. 1 Abakkolinso Chapter 15
  3. Yoswa Chapter 17
  4. Yoswa Chapter 11
  5. Olubereberye Chapter 29
  6. Nekkemiya Chapter 8
  7. Engero Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *