Read Isaaya Chapter 57 Online
Read Isaaya Chapter 57 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 57
Essuula 57
1. Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.
2. Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe.
3. Naye musembere wano, mmwe batabani b'omukazi omulogo, ezzadde ly'omwenzi n'omukazi omutambuzi.
4. Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba,
5. mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi?
6. Mu mayinja amaweweevu ag'omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo: ago ge wafuukira ekiweebwayo ekyokunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo?
7. Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.
8. Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w'enzigi n'emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.
9. N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.
10. Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika.
11. Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda saasirika busirisi, naawe n'otontya?
12. Ndibuulira obutuukirivu bwo, n'ebikolwa byo nabyo tebirikugasa.
13. Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu.
14. Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
15. Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.
16. Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.
17. Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.
18. Ndabye amakubo ge; era ndimuwonya: n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako.
19. Nze ntonda ebibala eby'emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n'eri oyo ali okumpi, bw'ayogera Mukama; nange ndimuwonya.
20. Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.
21. Tewali mirembe, bw'ayogera Katonda wange, eri ababi.
About Isaaya Chapter 57
Read Isaaya Chapter 57 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 57
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 57 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 57?
Isaaya Chapter 57 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 57 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 58
- Isaaya Chapter 29
- Isaaya Chapter 13
- Isaaya Chapter 7
- Isaaya Chapter 49
- Isaaya Chapter 53
- Isaaya Chapter 26