Olubereberye Chapter 28

For English

Read Olubereberye Chapter 28 Online

Read Olubereberye Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 28

Essuula 28

1. Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani.

2. Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko.

3. Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga;

4. era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu.

5. Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.

6. Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusindika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani;

7. era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu:

8. Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe;

9. Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.

10. Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani.

11. N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka.

12. N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go.

13. Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;

14. n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.

15. Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.

16. Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi.

17. N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu.

18. Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.

19. N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi.

20. Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,

21. n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange,

22. n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.

About Olubereberye Chapter 28

Read Olubereberye Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 28
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 28 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 28?

Olubereberye Chapter 28 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 28 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 7
  5. Engero Chapter 25
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 50
  2. Olubereberye Chapter 39
  3. Olubereberye Chapter 5
  4. Olubereberye Chapter 12
  5. Olubereberye Chapter 4
  6. Olubereberye Chapter 6
  7. Olubereberye Chapter 40

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 13
  2. 2 Abakkolinso Chapter 6
  3. Zabbuli Chapter 36
  4. Ebikolwa Chapter 25
  5. 2 Abakkolinso Chapter 10
  6. 1 Samwiri Chapter 3
  7. Ezekyeri Chapter 24
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *