Okubala Chapter 27

For English

Read Okubala Chapter 27 Online

Read Okubala Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubala and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okubala 27

Essuula 27

1. Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab'oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

2. Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'abakulu nekibiina kyonna, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, nga boogera nti

3. Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi.

4. Ekinaaba kiggisaawo ki erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.

5. Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.

6. Mukama n'agamba Musa nti

7. Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe.

8. Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe.

9. Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe.

10. Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika.

11. Era kitaawe bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa.

12. Awo Mukama n'agamba Musa nti Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri.

13. Kale bw'onoomala okugirengera, naawe olikuŋŋaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakuŋŋaanyizibwa:

14. kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw'ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.)

15. Musa n'agamba Mukama nti

16. Mukama, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, alonde omusajja okufuga ekibiina,

17. anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng'endiga ezitalina musumba.

18. Mukama n'agamba Musa nti Twala Yoswa mutabani wa Nuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo;

19. omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omukuutirire mu maaso gaabwe.

20. Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bawulirenga.

21. Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw'omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n'abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna.

22. Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'atwala Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna:

23. n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n'omukono gwa Musa.

About Okubala Chapter 27

Read Okubala Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okubala
Chapter: 27
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubala. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okubala Chapter 27 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okubala Chapter 27?

Okubala Chapter 27 is part of the Book of Okubala in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okubala Chapter 27 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 25
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 19
  5. Engero Chapter 17
  6. Engero Chapter 10
  7. Engero Chapter 7

Explore More from Okubala

  1. Okubala Chapter 30
  2. Okubala Chapter 32
  3. Okubala Chapter 21
  4. Okubala Chapter 23
  5. Okubala Chapter 4
  6. Okubala Chapter 24
  7. Okubala Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 3
  2. 1 Abakkolinso Chapter 5
  3. Eseza Chapter 7
  4. Lukka Chapter 19
  5. Ezekyeri Chapter 2
  6. 1 Samwiri Chapter 30
  7. Okuva Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *