Ezekyeri Chapter 4

For English

Read Ezekyeri Chapter 4 Online

Read Ezekyeri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 4

Essuula 4

1. Era, omwana w'omuntu, weddirire ettoffaali oliteeke mu maaso go, oliwandiikeko ekibuga, Yerusaalemi:

2. okizingize, okizimbireko ebigo, okituumireko ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeko ebitomera enjuyi zonna.

3. Era weddirire ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri.

4. Era nate galamiririra ku lubiriizi lwo olwa kkono, oluteekeko obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: ng'omuwendo gw'ennaku bwe guliba z'oligalamiririra ku lwo, bw'olyetikka obutali butuukirivu bwabwe.

5. Kubanga ntaddewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okuba gy'oli omuwendo gw'ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw'otyo bw'olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Isiraeri.

6. Era nate bw'oliba ng'omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy'oli.

7. Era osse amaaso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikkuddwako; era olikiragulirako.

8. Era, laba, nkuteekako enjegere, so tokyukanga okugalamirira ku lubiriizi olulala, okutuusa lw'olimala ennaku ez'okuzingiza kwo.

9. Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo.

10. N'emmere yo gy'onoolyanga eneepimibwanga, sekeri amakumi abiri buli lunaku: onoogiriiranga mu ntuuko zaayo.

11. Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago.

12. Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba.

13. Awo Mukama n'ayogera nti Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera.

14. Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! Laba, emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n'ennyama ey'omuzizo teyingiranga mu kamwa kange.

15. Awo n'alyoka aŋŋamba nti Laba, nkuwadde obusa bw'ente mu kifo ky'amazi ag'abantu, era onoolongooserezanga okwo omugaati gwo.

16. Era nate n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira:

17. babulwe omugaati n'amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.

About Ezekyeri Chapter 4

Read Ezekyeri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 4?

Ezekyeri Chapter 4 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 7
  2. Ezekyeri Chapter 9
  3. Ezekyeri Chapter 15
  4. Ezekyeri Chapter 45
  5. Ezekyeri Chapter 11
  6. Ezekyeri Chapter 14
  7. Ezekyeri Chapter 27

Related Chapters & Readings

  1. Yakobo Chapter 1
  2. Ebikolwa Chapter 8
  3. Ekyamateeka Chapter 34
  4. Zabbuli Chapter 24
  5. Ebikolwa Chapter 18
  6. Yobu Chapter 34
  7. Yobu Chapter 37
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *