Read Isaaya Chapter 8 Online
Read Isaaya Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 8
Essuula 8
1. Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n'ekkalaamu ey'omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi;
2. nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3. Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi.
4. Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.
5. Mukama n'ayogera nange nate omulundi omulala nti
6. Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n'omwana wa Lemaliya;
7. kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona:
8. era alyeyongera n'akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n'okugololwa kw'ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri; nga bwe yenkana obugazi.
9. Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka.
10. Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe.
11. Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti
12. Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka.
13. Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe.
14. Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.
15. Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa.
16. Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.
17. Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya.
18. Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19. Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?
20. Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21. Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu:
22. era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza eky'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
About Isaaya Chapter 8
Read Isaaya Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 8
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 8?
Isaaya Chapter 8 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 23
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 21
- Isaaya Chapter 45
- Isaaya Chapter 41
- Isaaya Chapter 14
- Isaaya Chapter 44
- Isaaya Chapter 1
- Isaaya Chapter 53