Read Isaaya Chapter 55 Online
Read Isaaya Chapter 55 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 55
Essuula 55
1. Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje mugule omwenge n'amata awatali bigula awatali muwendo.
2. Lwaki okuwaayo ebigula olw'ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu.
3. Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, n'obulamu bwammwe bunaaba bulamu: nange saalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira.
4. Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.
5. Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza.
6. Munoonye Mukama nga bw'akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw'akyali okumpi:
7. omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.
8. Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n'amakubo gammwe si makubo gange, bw'ayogera Mukama.
9. Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.
10. Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli ebyokulya;
11. bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omuisa mu ekyo kye nnakitumirira.
12. Kubanga mulifuluma n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo: ensozi n'obusozi ziribaguka okuyimba mu maaso gammwe, n'emiti gyonna egy'oku ttale girikuba mu ngalo.
13. Mu kifo ky'omweramanyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.
About Isaaya Chapter 55
Read Isaaya Chapter 55 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 55
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 55 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 55?
Isaaya Chapter 55 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 55 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 10
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 24
- Isaaya Chapter 41
- Isaaya Chapter 39
- Isaaya Chapter 23
- Isaaya Chapter 9
- Isaaya Chapter 29
- Isaaya Chapter 33