Read Isaaya Chapter 53 Online
Read Isaaya Chapter 53 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 53
Essuula 53
1. Ani akkiriza ebigambo byaffe: era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2. Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.
3. Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
4. Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.
5. Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
6. Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
7. Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke.
8. Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.
9. Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.
10. Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
11. Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12. Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.
About Isaaya Chapter 53
Read Isaaya Chapter 53 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 53
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 53 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 53?
Isaaya Chapter 53 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 53 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 50
- Isaaya Chapter 48
- Isaaya Chapter 58
- Isaaya Chapter 26
- Isaaya Chapter 10
- Isaaya Chapter 52
- Isaaya Chapter 64