Isaaya Chapter 48

For English

Read Isaaya Chapter 48 Online

Read Isaaya Chapter 48 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 48

Essuula 48

1. Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abavudde mu mazzi ga Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima so si mu butuukirivu.

2. Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow'eggye lye linnya lye.

3. Nabuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga: nabikola mangu ne bituukirira.

4. Kubanga namanya ng'oli mukakanyavu, n'ensingo yo kinywa kya kyuma, n'ekyenyi kyo kikomo;

5. kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nakiranga gy'oli: olemenga okwogera nti Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n'ekifaananyi kyange ekyole n'ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde.

6. Wakiwulira; laba bino byonna; nammwe temulikibuulira? Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino, ebigambo ebyakwekebwa, by'otomanyanga.

7. Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; eka okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nnali mbimanyi.

8. Weewaawo, towuliranga; weewaawo, tomanyanga; weewaawo, obw'edda bwonna okutu kwo tekuggukanga: kubanga namanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa musobya okuva mu lubuto.

9. Olw'erinnya lyange ndyosaawo obusungu bwange, n'olw'ettendo lyange ndizibiikiriza gy'oli nneme okukuzikiriza.

10. Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza; nkulondedde mu kikoomi kwe kubonyaabonyezebwa.

11. Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n'ekitiibwa kyange sirikiwa mulala:

12. Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita: nze nzuuyo; nze w'olubereberye, era nze w'enkomerero.

13. Weewaawo, omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw'ensi, n'omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu: bwe mbiyita ne biyimirira wamu.

14. Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala: alikola Babulooni by'ayagala, n'omukono gwe guliba ku Bakaludaaya.

15. Nze, nze mwene, njogedde; weewaawo, mmuyimuse; mmuleese, era olugendo lwe alirulabisa omukisa.

16. Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe.

17. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly'oba oyitamu.

18. Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'ennyanja:

19. era n'ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, n'ab'enda yo ng'empeke zaagwo: erinnya lye teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange.

20. Mufulume mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange n'okutuusa enkomerero y'ensi n'eddoboozi ery'okuyimba: mwogere nti Mukama anunudde omuweereza we Yakobo.

21. So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu: yabakulukusiza amazzi mu lwazi: era yayasa n'olwazi, amazzi ne gatiiriika.

22. Tewali mirembe eri ababi, bw'ayogera Mukama.

About Isaaya Chapter 48

Read Isaaya Chapter 48 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 48
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 48 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 48?

Isaaya Chapter 48 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 48 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 35
  2. Isaaya Chapter 21
  3. Isaaya Chapter 18
  4. Isaaya Chapter 43
  5. Isaaya Chapter 40
  6. Isaaya Chapter 27
  7. Isaaya Chapter 37

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 85
  2. Danyeri Chapter 4
  3. Abakkolosaayi Chapter 2
  4. Yeremiya Chapter 44
  5. Okuva Chapter 3
  6. Okubikkulirwa Chapter 19
  7. 2 Timoseewo Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *