Isaaya Chapter 47

For English

Read Isaaya Chapter 47 Online

Read Isaaya Chapter 47 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 47

Essuula 47

1. Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi.

2. Ddira emmengo ose obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga.

3. Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna.

4. Omununuzi waffe, Mukama ow'egge lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri.

5. Tuula ng'osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka.

6. Nasunguwalira abantu bange, navumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n'akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo.

7. N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma.

8. Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana:

9. naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi.

10. Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze.

11. Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde.

12. Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola.

13. Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako.

14. Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako.

15. Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.

About Isaaya Chapter 47

Read Isaaya Chapter 47 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 47
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 47 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 47?

Isaaya Chapter 47 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 47 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 9
  2. Isaaya Chapter 35
  3. Isaaya Chapter 19
  4. Isaaya Chapter 50
  5. Isaaya Chapter 66
  6. Isaaya Chapter 59
  7. Isaaya Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. 2 Bassekabaka Chapter 12
  2. Okuva Chapter 37
  3. Yeremiya Chapter 9
  4. Zabbuli Chapter 78
  5. Ebikolwa Chapter 25
  6. Ekyamateeka Chapter 16
  7. Lukka Chapter 10
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *