Isaaya Chapter 46

For English

Read Isaaya Chapter 46 Online

Read Isaaya Chapter 46 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 46

Essuula 46

1. Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye.

2. Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.

3. Mumpulire ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda:

4. n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitulanga: nze nakola era nze naaweekanga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga.

5. Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane?

6. Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza.

7. Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.

8. Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi.

9. Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana;

10. alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna:

11. ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola.

12. Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu:

13. nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.

About Isaaya Chapter 46

Read Isaaya Chapter 46 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 46
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 46 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 46?

Isaaya Chapter 46 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 46 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 13
  2. Isaaya Chapter 47
  3. Isaaya Chapter 33
  4. Isaaya Chapter 51
  5. Isaaya Chapter 29
  6. Isaaya Chapter 44
  7. Isaaya Chapter 8

Related Chapters & Readings

  1. Matayo Chapter 20
  2. Okuva Chapter 1
  3. Omubuulizi Chapter 1
  4. Nekkemiya Chapter 12
  5. 2 Abasessaloniika Chapter 1
  6. Zekkaliya Chapter 13
  7. Isaaya Chapter 58
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *