Isaaya Chapter 22

For English

Read Isaaya Chapter 22 Online

Read Isaaya Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 22

Essuula 22

1. Omugugu ogw'ekiwonvu eky'okwolesebwa. Obadde otya kaakano, n'okulinnya n'olinnyira ddala waggulu ku nnyumba?

2. Ggwe ajjudde okuleekaana, ekibuga eky'oluyoogaano, ekibuga eky'essanyu; ababo abattibwa tebattibwa na kitala, so tebafiiridde mu ntalo.

3. Abakufuga bonna baddukira wamu, baasibibwa abalasi: bonna abaasangibwa ku babo baasibirwa wamu, baddukira wala.

4. Kyennava njogera nti Mukyuse amaaso gammwe obutandaba, naakaaba nnyo amaziga; temutegana kunsanyusa olw'okunyagibwa kw'omuwala w'abantu bange.

5. Kubanga lwe lunaku olw'okukeŋŋentererwako era olw'okulinnyirirwako, era olw'okubuusizabuusizaako, oluva eri Mukama, Mukama ow'eggye mu kiwonvu eky'okwolesebwa; okumenyamenya bbugwe, n'okukaaba eri ensozi.

6. Eramu n'ayambalira omufuko, wamu n'amagaali ag'abasajja n'abeebagala embalaasi; Kiira n'asabuukulula engabo.

7. Awo olwatuuka ebiwonvu byo ebisinga obulungi ne bijjula amagaali, n'abeebagala embalaasi, ne batalira mu mulyango.

8. N'aggyawo ekibikka ku Yuda; n'otunuulira ku lunaku luli ebyokulwanyisa ebyali mu nnyumba ey'omu kibira.

9. Ne mulaba ebituli ebyawagulwa mu kibuga kya Dawudi, nga bingi: ne mukuŋŋaanya amazzi ag'ekidiba ekya wansi.

10. Ne mubala ennyumba ez'omu Yerusaalemi, ne mumenyaamenya ennyumba okunyweza bbugwe.

11. Era ne musimira ekidiba amazzi ag'ekidiba eky'edda wakati wa babbugwe bombi: naye ne mutatunuulira oyo eyagira kino, so temwalowooza oyo eyakikola edda ennyo.

12. Era ku lunaku luli Mukama, Mukama ow'eggye, n'ayita abantu okukaaba amaziga n'okuwuubaala n'okumwa ebiwalaata n'okwesiba ebibukutu:

13. era, laba ssanyu na kujaguza, kutta nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: tulye tunywe kubanga enkya tunaafa.

14. Mukama ow'eggye ne yeebikkulira mu matu gange nti Mazima obutali butuukirivu buno tebulirongoosebwa okubavaako okutuusa lwe mulifa, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.

15. Bw'atyo bw'ayogera Mukama; Mukama ow'eggye, nti Weegendere eri omuwanika oyo, ye Sebuna, ye mukulu w'ennyumba, oyogere nti

16. Okola ki wano? era ani gw'olina wano n'okwebajjira ne weebajjira wano entaana? ng'omubajjira entaana waggulu, nga yeetemera ennyumba mu lwazi!

17. Laba, Mukama alikukasuka lwa maanyi ng'omusajja ow'amaanyi; weewaawo, alikusabikira ddala.

18. Talirema kukyuka n'akukasuka ng'omupiira mu nsi engazi; eyo gy'olifiira, era eyo amagaali ag'ekitiibwa kyo gye galibeera, ggwe ensonyi z'ennyumba ya mukama wo.

19. Nange ndikuggya mu bwami bwo, era alikussa okuva mu bukulu bwo.

20. Awo olulituuka ku lunaku luli ndiyita omuddu wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya:

21. era ndimwambaza ekyambalo kyo, ne mmunyweza n'olukoba lwo, era ndimuteresa okufuga kwo mu mukono gwe: era aliba kitaabwe eri abo abatuula mu Yerusaalemi n'eri ennyumba ya Yuda.

22. N'ekisumuluzo eky'ennyumba ya Dawudi ndikiteeka ku kibegabega kye; era aliggulawo so tewaliba aggalawo; era aliggalawo so tewaliba aggulawo.

23. Era ndimukomerera ng'enninga mu kifo ekinywevu; era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.

24. Era balimuwanikako ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe, ab'enda n'ezzadde, buli kintu ekitono, okuva ku bukompe okutuuka ku bita byonna.

25. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama ow'eggye, enninga eyakomererwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; era eritemebwawo n'egwa, n'omugugu ogwali ku yo gulisalibwako; kubanga Mukama akyogedde.

About Isaaya Chapter 22

Read Isaaya Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 22
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 22?

Isaaya Chapter 22 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 11
  2. Isaaya Chapter 36
  3. Isaaya Chapter 6
  4. Isaaya Chapter 53
  5. Isaaya Chapter 18
  6. Isaaya Chapter 39
  7. Isaaya Chapter 23

Related Chapters & Readings

  1. Matayo Chapter 28
  2. Abaruumi Chapter 3
  3. 1 Ebyomumirembe Chapter 22
  4. Abafiripi Chapter 2
  5. Ebikolwa Chapter 6
  6. Lukka Chapter 18
  7. 1 Ebyomumirembe Chapter 19
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *