Read Isaaya Chapter 44 Online
Read Isaaya Chapter 44 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 44
Essuula 44
1. Naye kaakano wulira, ggwe Yakobo omuweereza wange: ne Isiraeri gwe nnalonda:
2. bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakukola naakubumba okuva mu lubuto, anaakuyambanga, nti Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; naawe Yesuluni gwe nnalonda.
3. Kubanga ndifuka amazzi ku oyo alumiddwa ennyonta n'emigga ku ttaka ekkalu: ndifuka omwoyo gwange ku zzadde lyo n'omukisa gwange ku nda yo:
4. era baliroka mu muddo ng'enzingu ku mabbali g'emigga.
5. Walibaawo aligamba nti Nze wa Mukama; n'omulala alyetuuma eriinya lya Yakobo; n'omulala aliwandiika n'omukono gwe nga wa Mukama, ne yeetuuma erinnya lya Isiraeri.
6. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze.
7. Era ani, nga nze, aliyita n'akibuulira n'akinteekerateeera, kasookedde nzizaawo eggwanga ery'edda? n'ebyo ebijja okujja n’ebyo ebiribaawo babibuulire.
8. Temutya so temutekemuka: obw'edda saakubuulira ne nkiraga? nammwe muli bajulirwa bange. Waliwo Katonda wabula nze? weewaawo, tewali Lwazi; nze siriiko lwe nmanyi.
9. Abo abakola ekifaananyi ekyole bonna birerya; n'ebintu byabwe eby'okwesiima tebiriiko kye birigasa: n'abajulirwa baabwe bo tebalaba so tebamanyi; balyoke bakwatibwe ensonyi.
10. Ani eyakola katonda oba eyasaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kigasa?
11. Laba, banne bonna balikwatibwa ensonyi; n'abakozi ba mu bantu: bonna bakuŋŋaanyizibwe wamu, bayimirire; balitya balikwatirwa wamu ensonyi.
12. Omuweesi ng'aweesa embazzi n'ayisa mu manda n'agisennyenta n'ennyondo n'agisaaza n'omukono gwe ogw'amaanyi: weewaawo, ng'alumwa enjala amaanyi ge ne gaggwaawo; nga tanywa ku mazzi n'ayongobera.
13. Omubazzi ng'aleega omugwa; ng'akiramba n'ekkalaamu; ng'akisaanya n'eranda n'akiramba kyonna n'ekyuma ekigera, n'akifaananya ekifaananyi ky'omuntu, ng'obulungi bw'omuntu bwe buli, okutuulanga mu nnyumba.
14. Nga yeetemera emivule n'atwala enzo n'omuyovu, era yeenywerezaako ogumu ku miti egy'omu kibira: ng'asimba enkanaga enkuba n'egimeza.
15. Awo eriba ya nku eri omuntu; n'agitwalako n'ayota; weewaawo, ng'agikoleeza n'ayokya omugaati: weewaawo, ng'akola katonda n'akisinza; ng'akola ekifaananyi ekyole n'akivuunamira.
16. Ekitundu kyakyo ng'akyokya mu muliro; ku kitundu kyakyo kw'aggya okulya ennyama; ng'ayokya njokye n'akkuta: weewaawo, ng'ayota n'ayogera nti Owa, mbugumye, ndabye omuliro:
17. n'ekitundu kyakyo ekifisseeko ng'akifuula katonda, ekifaananyi kye ekyole: ng'akivuunamira n'asinza n'akyegayirira n'ayogera nti Mponya; kubanga ggwe katonda wange.
18. Tebamanyi so tebalowooza: kubanga azibye amaaso gaabwe n'okuyinza ne batayinza kulaba; n'emitima gyabwe n'okuyinza ne batayinza kutegeera.
19. So tewali ajjukira, so tewali kumanya newakubadde okutegeera n'okwogera n'ayogera nti Ekitundu kyakyo nkyokezza mu muliro, weewaawo, era nsiise omugaati ku manda gaakyo; njokezza ennyama ne ngirya: ate ekitundu kyakyo ekifisseeko n'akifuula eky'omuzizo? n'avuunamira ekisiki ky'omuti?
20. Alya evvu: omutima ogwalimbibwa gumukyamizza n'okuyinza n'atayinza kuwonya bulamu bwe newakubadde okwogera nti Eky'obulimba tekiri mu mukono gwange ogwa ddyo?
21. Ebyo bijjukire, ggwe Yakobo; naawe Isiraeri, kubanga ggwe muweereza wange: nze nakubumba; ggwe muweereza wange: ggwe Isiraeri, sirikwerabira.
22. Nsangudde ebyonoono byo ng'ekire ekiziyivu, n'ebibi byo ng'ekire: komawo gye ndi; kubanga nakununula.
23. Yimba, ggwe eggulu, kubanga Mukama ye akikoze; mwogerere waggulu, mmwe enjuyi eza wansi ez'ensi; mubaguke okuyimba, mmwe ensozi, ggwe ekibira na buli muti ogulimu: kubanga Mukama yanunula Yakobo era alyegulumiriza mu Isiraeri.
24. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, omununuzi wo, era eyakubumba okuva mu lubuto, nti Nze Mukama akola byonna; abamba eggulu nzekka; ayanjuluza ensi; ani ali awamu nange?
25. atta obubonero obw'abalimba era alalusa abalogo; akyusa abagezigezi okudda ennyuma ne nsiruwaza amagezi gaabwe:
26. anyweza ekigambo eky'omuweereza we ne ntuukiriza okuteesa kw'ababaka be; ayogera ku Yerusaalemi nti Kirituulwamu; ne ku bibuga bya Yuda nti Birizimbibwa, nange ndigolokosa ebifo byamu ebyazika:
27. agamba obuziba nti Kalira, nange ndikaliza emigga:
28. ayogera ku Kuulo nti Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna: n'okwogera ne njogera ku Yerusaalemi nti Kirizimbibwa; era agamba yeekaalu nti Omusingi gwo guliteekebwawo.
About Isaaya Chapter 44
Read Isaaya Chapter 44 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 44
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 44 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 44?
Isaaya Chapter 44 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 44 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 14
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 14
- Isaaya Chapter 46
- Isaaya Chapter 31
- Isaaya Chapter 6
- Isaaya Chapter 28
- Isaaya Chapter 16
- Isaaya Chapter 4