1 Timoseewo Chapter 1

For English

Read 1 Timoseewo Chapter 1 Online

Read 1 Timoseewo Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Timoseewo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Timoseewo 1

Essuula 1

1. Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe;

2. eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza: ekisa, okusaasira, nemirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.

3. Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala,

4. newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo by'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kukkiriza; bwe nkola bwe ntyo ne kaakano.

5. Naye enkomerero y'ekiragiro kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa:

6. ebyo abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu;

7. nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa.

8. Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agasoma ng'amateeka bwe gali,

9. ng'amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu,

10. abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu;

11. ng'enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa nze.

12. Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza,

13. olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza;

14. ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu.

15. Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye;

16. naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow'olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo.

17. Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.

18. Ekiragiro kino nkuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi,

19. ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe:

20. mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.

About 1 Timoseewo Chapter 1

Read 1 Timoseewo Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Timoseewo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Timoseewo
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Timoseewo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Timoseewo Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Timoseewo Chapter 1?

1 Timoseewo Chapter 1 is part of the Book of 1 Timoseewo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Timoseewo Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-timoseewo

  1. 1 Timoseewo Chapter 2
  2. 1 Timoseewo Chapter 6
  3. 1 Timoseewo Chapter 5
  4. 1 Timoseewo Chapter 4
  5. 1 Timoseewo Chapter 3

Explore More from Endagaano Empya

  1. Matayo Chapter 13
  2. Makko Chapter 16
  3. 1 Timoseewo Chapter 6
  4. 2 Peetero Chapter 3
  5. Lukka Chapter 18
  6. Abafiripi Chapter 1
  7. Abakkolosaayi Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. 1 Abakkolinso Chapter 11
  2. Yoswa Chapter 22
  3. Ezekyeri Chapter 24
  4. 2 Peetero Chapter 3
  5. Okubala Chapter 31
  6. Zabbuli Chapter 103
  7. Yeremiya Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *