Amosi Chapter 8

For English

Read Amosi Chapter 8 Online

Read Amosi Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Amosi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Amosi 8

Essuula 8

1. Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya.

2. N'ayogera nti Amosi, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba ekibbo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Enkomerero etuuse ku bantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri.

3. Awo ennyimba ez'omu yeekaalu ziriba kuwowoggana ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda: emirambo giriba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirise.

4. Muwulire kino, ai mmwe abaagala okuliira ddala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mwogera nti

5. Omwezi ogwakaboneka guliggwaako ddi, tulyoke tutunde eŋŋaano? ne ssabbiiti, tusumulule eŋŋaano? nga mutoniwaza efa, era nga munenewaza sekeri, era nga mulyazaamaanya ne minzaani ez'obulimba;

6. tugule abaavu n’effeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engatto, era tutunde ebisasiro by'eŋŋaano.

7. Mukama alayidde obulungi bwa Yakobo nti Mazima seerabirenga bikolwa byabwe na kimu ennaku zonna.

8. Ensi terikankanira ekyo, buli muntu n'awuubaala abeera omwo? weewaawo, eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era eritabanguka n'ekka nate nga Omugga ogw'e Misiri.

9. Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama Katonda, ndigwisa enjuba mu ttuntu, era ndireeta ekizikiza ku nsi obudde nga butangaala.

10. Era ndifuula embaga zammwe okuba okuwuubaala, n'ennyimba zammwe zonna okuba okukungubaga; era ndireeta ebibukutu ku biwato byonna, n'ebiwalaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaalibwa omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala.

11. Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lwe ndiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama.

12. Awo balibulubuuta okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja endala, n'okuva obukiika obwa kkono okutuuka ebuvanjuba; baliddukana mbiro eruuyi n'eruuyi okunoonya ekigambo kya Mukama, so tebalikiraba.

13. Ku lunaku olwo abawala abalungi n'abalenzi balizirika olw'ennyonta.

14. Abalayira ekibi kya Samaliya ne boogera nti Nga Katonda wo, ai Ddaani, bw'ali omulamu; era nti Ng'ekkubo lya Beeruseba bwe liri eddamu; abo baligwa so tebaliyimuka nate.

About Amosi Chapter 8

Read Amosi Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Amosi
Chapter: 8
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Amosi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Amosi Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Amosi Chapter 8?

Amosi Chapter 8 is part of the Book of Amosi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Amosi Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from amosi

  1. Amosi Chapter 1
  2. Amosi Chapter 3
  3. Amosi Chapter 8
  4. Amosi Chapter 5
  5. Amosi Chapter 2
  6. Amosi Chapter 4
  7. Amosi Chapter 9

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Nekkemiya Chapter 13
  2. Isaaya Chapter 9
  3. Okubala Chapter 2
  4. 1 Bassekabaka Chapter 21
  5. Okuva Chapter 19
  6. Engero Chapter 31
  7. Olubereberye Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Makko Chapter 10
  2. Zekkaliya Chapter 14
  3. Yeremiya Chapter 37
  4. Ekyabalamuzi Chapter 1
  5. Malaki Chapter 3
  6. Yeremiya Chapter 20
  7. Zabbuli Chapter 23
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *