Isaaya Chapter 1

For English

Read Isaaya Chapter 1 Online

Read Isaaya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 1

Essuula 1

1. Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi; ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

2. Wulira ggwe Eggulu era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nayonsa ne ndera abaana, ne banjeemera,

3. Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo: naye Isiraeri tamanyi, abantu bange tebalowooza.

4. Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abazitoowereddwa n'obutali butuukirivu, ezzadde ery'abakola obubi, abaana aboonoona: balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bazze ennyuma.

5. Ekibaagaza ki okukubibwa nate, n'okweyongera ne mweyongera okujeema? omutwe gwonna gulwadde, n'omutima gwonna guzirise.

6. Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuliimu bulamu; wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa amavundu: tebibunizibwanga so tebisibibwanga so tebiteekebwangamu mafuta.

7. Ensi yammwe ezise; ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; ensi yammwe, ab'amawanga bagiriira mu maaso gammwe, era ezise, kubanga ab'amawanga bagisudde.

8. Era omuwala wa Sayuuni asigadde ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekikuumirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingizibwa.

9. Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo kitundu ekyafikkawo ekitono ennyo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola.

10. Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu; mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola.

11. Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira, bw'ayogera Mukama: nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, newakubadde ogw'abaana b'endiga, newakubadde ogw'embuzi emmandwa.

12. Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange?

13. Temuleetanga nate bitone ebitaliimu; obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne ssabbiiti, okuyita amakuŋŋaaniro, sisobola butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.

14. Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa obulamu bwange bubikyawa: kwe kutegana gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga.

15. Era bwe munaayanjalanga engalo zammwe, naabakwekanga amaaso gange: weewaawo, bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.

16. Munaabe, mwerongoose; muggyengawo obubi bw'ebikolwa byammwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi:

17. muyige okukolanga obulungi; mugobererenga eby'ensonga; mudduukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gw'atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.

18. Mujje nno, tuteese fembi bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe bitwakaala ng'ebendera, binaaba ng'ebyoya by’endiga.

19. Bwe munaagondanga nemuwulira; munaalyanga ebirungi eby’ensi:

20. naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

21. Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga emisango egy'ensonga! obutuukirivu bwatuulanga mu ye, naye kaakano bassi.

22. Effeeza yo efuuse masengere, omwenge gwo gutabudwamu amazzi.

23. Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi; buli muntu yeegomba enguzi, era agoberera empeera: tebasala musango gw'atalina kitaawe, so n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gye bali.

24. Kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Owaamaanyi owa Isiraeri, nti A, ndyeggyako abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa:

25. era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, ne nziyawo essasi lyo lyonna:

26. era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka: oluvannyuma oliyitibwa nti Ekibuga eky'obutuukirivu, ekibuga ekyesigwa.

27. Sayuuni alinunulibwa n'omusango n'abakyufu be n'obutuukirivu.

28. Naye okuzikirira kw'aboonoonyi n'abalina ebibi kulibeera wamu n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.

29. Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule gye mwegomba, era muliswazibwa olw'ensuku ze mweroboza.

30. Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amalagala, era ng'olusuku omutali mazzi.

31. Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro; era byombi biriggiira wamu, so tewaliba abizikiza.

About Isaaya Chapter 1

Read Isaaya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 1?

Isaaya Chapter 1 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 22
  2. Isaaya Chapter 36
  3. Isaaya Chapter 52
  4. Isaaya Chapter 37
  5. Isaaya Chapter 31
  6. Isaaya Chapter 27
  7. Isaaya Chapter 40

Related Chapters & Readings

  1. Ebyabaleevi Chapter 3
  2. Okuva Chapter 36
  3. Yeremiya Chapter 33
  4. Makko Chapter 5
  5. Ebikolwa Chapter 18
  6. 2 Peetero Chapter 3
  7. Yeremiya Chapter 43
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *