Isaaya Chapter 43

For English

Read Isaaya Chapter 43 Online

Read Isaaya Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 43

Essuula 43

1. Naye kaakano bw'atyo bw'ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange.

2. Bw'onooyitanga mu mazzi, naabeeranga naawe; ne mu migga, tegirikusaanyaawo: bw'onootambulanga okuyita mu muliro, toosiriirenga; so n'omuliro tegulyakira ku ggwe.

3. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo; nawaayo Misiri okuba ekinunulo kyo, Kuusi ne Seba ku lulwo.

4. Kubanga wali wa muwendo mungi mu maaso gange, era wa kitiibwa, nange nakwagala; kyendiva mpaayo abasajja ku lulwo n'amawanga ku lw'obulamu bwo.

5. Totya; kubanga nze ndi wamu naawe: ndireeta ezzadde lyo okuliggya ebuvanjuba ne nkukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba;

6. ndigamba obukiika obwa kkono nti Waayo; n'obukiika obwa ddyo nti Togaana nabo; leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y'ensi;

7. buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze namubumba; weewaawo, namukola.

8. Fulumya abazibe b'amaaso abalina amaaso n'abaggavu b'amatu abalina amatu.

9. Amawanga gonna gakuŋŋaanyizibwe wamu n'abantu beetabe: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n'atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima.

10. Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama n'omuweereza wange gwe nnalonda mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra.

11. Nze, nze mwene, nze Mukama so tewali mulokozi wabula nze.

12. Nze nabuulira era nalokola era nalaga, so tewabanga mu mmwe katonda mulala: kye mubeeredde abajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, nange ndi Katonda.

13. Weewaawo, omusana kasookedde gubaawo era nze nzuuyo; so tewali ayinza okuwonya mu mukono gwange: ndikola omulimu, era ani ali guziyiza?

14. Bw'atyo bw'ayogera Mukama omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Ku lwammwe natuma e Babulooni, era ndibaserengesa bonna ng'abadduse, be Bakaludaaya, mu byombo eby'okusanyuka kwabwe.

15. Nze ndi Mukama Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isiraeri, Kabaka wammwe.

16. Bw'atyo bw'ayogera Mukama akuba oluguudo mu nnyanja n'ekkubo mu mazzi ag'amaanyi.

17. afulumya eggaali n'embalaasi eggye n'obuyinza; bagalamira wamu, tebaligolokoka; bazikiridde, bazikidde ng'enfuuzi: nti

18. Temujjukira ebyasooka okubaawo, so temulowooza bigambo bya dda.

19. Laba, ndikola ekigambo ekiggya kaakano kirirabika; temulikimanya ndikuba oluguudo ne mu lukoola, ne ndeeta emigga mu ddungu.

20. Ensolo ez'omu nsiko zirinzisaamu ekitiibwa, ebibe ne bamaaya kubanga ngaba amazzi mu lukoola n'emigga mu ddungu, okunywesa abantu bange, abalonde bange:

21. abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange.

22. Naye tonkaabiranga, ggwe Yakobo; naye wantamwa, ggwe Isiraeri.

23. Tondeeteranga nsolo ntono ey'ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzisaamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n'ebiweebwayo so sikukooyesanga na mugavu.

24. Tonguliranga mmuli mpoomerevu na ffeeza, so tonzikusanga na masavu ga ssaddaaka zo naye ggwe wampeerezesa n'ebibi byo, wankooyesa n'obutali butuukirivu bwo.

25. Nze, nze mwene, nze nzuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze; so sirijjukira bibi byo.

26. Njijukiza; tuwoze fembi: leeta ensonga yo olyoke oweebwe obutuukirivu.

27. Kitaawo eyasooka yayonoona n'abategeeza bo bansobya.

28. Kyendiva nvumisa abakulu ab'omu watukuvu, era ndifuula Yakobo ekikolimo ne Isiraeri ekivume.

About Isaaya Chapter 43

Read Isaaya Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 43
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 43 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 43?

Isaaya Chapter 43 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 43 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 23
  2. Isaaya Chapter 61
  3. Isaaya Chapter 42
  4. Isaaya Chapter 56
  5. Isaaya Chapter 32
  6. Isaaya Chapter 21
  7. Isaaya Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. Abaruumi Chapter 4
  2. Makko Chapter 16
  3. Ezekyeri Chapter 10
  4. 2 Samwiri Chapter 15
  5. Okubikkulirwa Chapter 10
  6. Abaruumi Chapter 14
  7. 1 Samwiri Chapter 19
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *