Read Isaaya Chapter 23 Online
Read Isaaya Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 23
Essuula 23
1. Omugugu gwa Ttuulo. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi; kubanga kizise, obutabaamu nnyumba newakubadde okuyingiramu; bakibikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.
2. Musirike, mmwe abatuula ku kizinga; ggwe abasuubuzi ab’e Zidoni abawunguka ennyanja gwe bajjuza.
3. Era ku mazzi amangi ensigo za Sikoli, ebikungulwa bya Kiyira, bye byali amagoba ge; era oyo ye yali akatale k'amawanga.
4. Kwatibwa ensonyi, ggwe Zidoni: kubanga ennyanja eyogedde, ekigo eky'ennyanja, nti Sinnalumwa kuzaala, so sinnazaala, so sinnayonsa balenzi, so sinnalera bawala.
5. Ebigambo bwe birituuka e Misiri, balinakuwalira nnyo ebigambo eby'e Ttuulo.
6. Muwunguke mugende e Talusiisi; muwowoggane, mmwe abatuula ku kizinga.
7. Kino kye kibuga kyammwe eky'essanyu ekimaze emyaka emingi era ebigere byakyo ebyakitwalanga mu bitundu eby'ewala olw'obubudamo?
8. Ani ateesezza kino ku Ttuulo, ekibuga ekitikkira engule, abasuubuzi baamu balangira, abatunzi baamu be b'ekitiibwa mu nsi?
9. Mukama ow'eggye ye akiteesezza, okuvumisa amalala ag'ekitiibwa kyonna, okunyoomesa ab'ekitiibwa bonna mu nsi.
10. Yita mu nsi yo nga Kiyira, ggwe muwala wa Talusiisi; tewakyali lukoba olukusiba.
11. Agolodde omukono gwe ku nnyanja, anyeenyezza obwakabaka: Mukama alagidde eby'e Kanani, okuzikiriza ebigo byamu.
12. N'ayogera nti Tokyeyongera kusanyuka, ggwe muwala wa Zidoni ajoogebwa: golokoka, owunguke ogende e Kittimu; era n'eyo toliba na kuwummula.
13. Laba, ensi ey'Abakaludaaya; eggwanga lino terikyaliwo; Omwasuli agifudde ey'ensolo ez'omu ddungu: baazimba ebigo byabwe, baasuula amayumba gaamu; yabizikiriza.
14. Muwowoggane, mmwe ebyombo eby'e Talusiisi: kubanga ekigo kyammwe kizise.
15. Awo olulituuka ku lunaku luli Ttuulo kiryerabirirwa emyaka nsanvu, ng'ennaku za kabaka omu bwe ziriba: emyaka nsanvu nga giweddeko ebiriba ku Ttuulo biriba ng'ebiri mu luyimba olw'omwenzi.
16. Ddira ennanga otambuletambule mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabirwa; kuba bulungi ennanga, oyimbe ennyimba nnyingi, olyoke ojjukirwe.
17. Awo olulituuka emyaka nsanvu nga giweddeko Mukama alijjira Ttuulo, naye aliddira empeera ye, era alyenda n'obwakabaka bwonna obw'ensi obusaasaanidde wonna.
18. N'ebibye eby'obuguzi n'empeera ye biriba butukuvu eri Mukama: tebiriterekebwa so tebiriwanikibwa; kubanga ebibye eby'obuguzi biriba by'abo abatuula mu maaso ga Mukama, okulyanga okukkuta, n'okuba ebyambalo ebigumu.
About Isaaya Chapter 23
Read Isaaya Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 23
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 23 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 23?
Isaaya Chapter 23 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 23 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 18
- Isaaya Chapter 24
- Isaaya Chapter 22
- Isaaya Chapter 25
- Isaaya Chapter 21
- Isaaya Chapter 41
- Isaaya Chapter 11