Read Isaaya Chapter 38 Online
Read Isaaya Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 38
Essuula 38
1. Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n’amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
2. Awo Keezeekiya n'akyusiza amaaso ge ku kisenge ne yeegayirira Mukama n'ayogera nti
3. Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
4. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti
5. Genda ogambe Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano.
6. Era ndikuwonya ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli: era ndirwanirira ekibuga kino.
7. Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli okuva eri Mukama nga Mukama alikola ekigambo kino ky'ayogedde:
8. laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n'enjuba, ebbanga ery'amadaala ekkumi. Awo enjuba n'eddayo ebbanga ery'amadaala ekkumi ku madaala ge yali ekkiddeko.
9. Okuwandiika kwa Keezeekiya kabaka wa Yuda, bwe yamala okulwala era ng'awonye endwadde ye.
10. N'ayogera nti Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe: Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.
11. N'ayogera nti Siriraba Mukama, Mukama mu nsi y'abalamu: Siriraba bantu nate wamu n'abatuula mu nsi.
12. Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba: Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
13. Neesirisa okutuusa enkya; ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
14. Ng'akataayi oba sekanyolya, bwe nnavulungutana bwe ntyo; Nawuubaala nga kaamukuukulu: amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ai Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.
15. Naayogera ntya? yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Naatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange.
16. Ai Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange: Kale mponya onnamye.
17. Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo: Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna ennyuma w'amabega go.
18. Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tekuyinza kukusuuta: Abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go.
19. Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bwe nkola leero Kitaabwe alitegeeza abaana amazima go.
20. Mukama yeeteeseteese okundokola: Kyetunaavanga tuyimbira ennyimba zange mu nnanga Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.
21. Era Isaaya yali ayogedde nti Baddire ekitole ky'ettiini bakisiige ku jjute, era aliwona.
22. Ne Keezeekiya yali ayogedde nti Kaluwa akabonero nga ndyambuka mu nnyumba ya Mukama?
About Isaaya Chapter 38
Read Isaaya Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 38
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 38 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 38?
Isaaya Chapter 38 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 38 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 56
- Isaaya Chapter 33
- Isaaya Chapter 6
- Isaaya Chapter 15
- Isaaya Chapter 24
- Isaaya Chapter 29
- Isaaya Chapter 27