Read Engero Chapter 1 Online
Read Engero Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 1
Essuula 1
1. Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2. Okumanyanga amagezi n'okuyigirizibwanga; Okwawulanga ebigambo eby'okutegeera;
3. Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi, Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga;
4. Okuwanga abatalina magezi obukabakaba, Omulenzi abeerenga n'okumanya n'okuteesa:
5. Ow'amagezi awulire yeeyongerenga okuba n'okuyiga; Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu.
6. Okutegeeranga olugero n'ekifaananyi; Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.
7. Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.
8. Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, So tova mu tteeka lya nnyoko:
9. Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo, N'emikuufu egyetoolodde obulago bwo.
10. Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda, Tokkirizanga.
11. Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna, Tuteege omusaayi, Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga;
12. Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe, Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
13. Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo omungi. Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago;
14. Oneekubira akalulu wamu naffe; Fenna tunaabanga n'ensawo emu:
15. Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo: Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe:
16. Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, Era byanguwa okuyiwa omusaayi.
17. Kubanga bategera bwereere ekitimba, Ennyonyi yonna ng'ekiraba:
18. Era abo bateega omusaayi gwabwe bo, Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.
19. Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba; Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.
20. Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi;
21. Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu miryango, Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago:
22. Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23. Mukyuke olw'okunenya kwange: Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli, Naabamanyisanga ebigambo byange.
24. Kubanga mpise, mmwe ne mugaana; Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
25. Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna, So temwagadde kunenya kwange n'akatono:
26. Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bw'erituuka;
27. Entiisa yammwe bw'erituuka ng'omuyaga, N'ennaku ze muliraba bwe zirijja ng'embuyaga ez'akazimu; Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28. Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu; Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
29. Kubanga baakyawanga okumanya, So tebeerobozanga kutya Mukama:
30. Tebaayagalanga kuteesa kwange n'akatono; Baanyoomanga okunenya kwange kwonna:
31. Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
32. Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, N'okulaba omukisa okw'abasirusiru kulibazikiriza.
33. Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.
About Engero Chapter 1
Read Engero Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 1?
Engero Chapter 1 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from engero
- Engero Chapter 24
- Engero Chapter 13
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 30
- Engero Chapter 11
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 27