Read Isaaya Chapter 33 Online
Read Isaaya Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 33
Essuula 33
1. Zikusanze ggwe anyaga so tonyagibwanga; era alyazaamaanya, so tebakulyazaamaanyanga! Bw'olireka okunyaga, n'olyoka onyagibwa; era bw'olimalira ddala okulyazaamaanya, ne balyoka bakulyazaamaanya.
2. Ai Mukama, tukwatirwe ekisa; twakulindirira: beera mukono gwabwe buli nkya, era obulokozi bwaffe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
3. Olw'eddoboozi ery'okuyoogaana amawanga gadduse: olw'okweyimusa ggwe amawanga gasaasaanye.
4. N'omunyago gwammwe gulikuŋŋaanyizibwa ng'akawuka bwe kakuŋŋaanya: ng'enzige bwe zigwa bwe baligugwako bwe batyo.
5. Mukama agulumizibwa kubanga atuula waggulu: ajjuzizza Sayuuni omusango n'obutuukirivu.
6. Era walibaawo enkalakkalira mu biro byo, obulokozi obusukkirira, amagezi n'okumanya: okutya Mukama bwe bugagga bwe.
7. Laba, abazira baabwe bakaabira bweru: ababaka ab'emirembe bakaaba nnyo amaziga.
8. Enguudo zizise, omutambuze aggwaawo: amenye endagaano, anyoomye ebibuga, tassaayo mwoyo eri abantu.
9. Ensi ewuubaala eyongobera: Lebanooni akwatiddwa ensonyi awotoka: Saloni ali ng'eddungu; ne Basani ne Kalumeeri bawaatula.
10. Kaakano naagolokoka, bw'ayogera Mukama; kaakano neeyimusa kaakano naagulumizibwa.
11. Muliba mbuto za bisusunku, mulizaala ssubi: omukka gwammwe muliro ogulibookya.
12. N'amawanga galiba ng'okwokya kw'ensimbi: ng'amaggwa agatemebwa agookerwa mu muliro.
13. Muwulire, mmwe abali ewala bye nkoze; nammwe abali okumpi mukkirize amaanyi gange.
14. Abalina ebibi abali mu Sayuuni batidde; okukankana kugudde ku abo abatatya Katonda. Ani ku ffe alituula awamu n'omuliro ogwokya? ani ku ffe alituula awamu n'okwokya okutaliggwaawo?
15. Oyo atambula n'obutuukirivu, era ayogera eby'amazima; oyo anyooma amagoba agava mu kujooga, akunkumula engalo ze obutakwata nguzi, aziba amatu ge obutawulira musaayi, era aziba amaaso ge obutatunuulira bubi;
16. oyo ye alituula waggulu: ekifo kye eky'okwekuuma kiriba nkomera za mayinja: emmere ye anaagiweebwanga; amazzi ge galiba ga nkalakkalira.
17. Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe: galiraba ensi eziyimirira ewala.
18. Omutima gwo gulifumiitiriza entiisa: ali ludda wa oyo eyabala, ali ludda wa oyo eyagera omusolo? ali ludda wa oyo eyabala ebigo?
19. Toliraba ggwanga kkakali, eggwanga eririna enjogera enzibu gy'otoyinza kumamya; eririna olulimi olunnaggwanga lw'otoyinza kutegeera.
20. Tunuulira Sayuuni, ekibuga eky'embaga zaffe: amaaso go galiraba Yerusaalemi nga kifo kya kutuulamu kitereevu, eweema eterijjululwa, enkondo zaayo tezirisimbulwa ennaku zonna, so tewaliba ku migwa gyayo egirikutulwa.
21. Naye eyo Mukama alibeera naffe mu bukulu, ekifo eky'emigga emigazi n'ensulo; omutaliyita lyato erivugibwa, so n’ekyombo ekinene tekirigendamu.
22. Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama ye muteesi w'amateeka gye tuli, Mukama ye kabaka waffe; ye alitulokola.
23. Emigwa gyo egisiba gisumulukuse; tebayinza kunyweza kikolo kya mulongooti gwabwe, tebayinza kuwanika ttanga: awo ne bagereka ebintu eby'omunyago omunene; abawenyera baatwala omunyago.
24. N'oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde: abantu abatuula omwo balisonyiyibwa obutali butuukirivu bwabwe.
About Isaaya Chapter 33
Read Isaaya Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 33
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 33 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 33?
Isaaya Chapter 33 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 33 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 62
- Isaaya Chapter 10
- Isaaya Chapter 11
- Isaaya Chapter 12
- Isaaya Chapter 47
- Isaaya Chapter 7
- Isaaya Chapter 13