Olubereberye Chapter 38

For English

Read Olubereberye Chapter 38 Online

Read Olubereberye Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 38

Essuula 38

1. Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'aserengeta, n'ayingira mu nnyumba ey'omu Adulamu, erinnya lye Kira.

2. Yuda n'alabayo omukazi omwana w'Omukanani erinnya lye Suwa; n'amutwala, n'ayingira gy'ali.

3. N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri.

4. N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani.

5. Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera: ne Yuda yali mu Kezibi, bwe yamuzaala.

6. Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali.

7. Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta.

8. Yuda n'agamba Onani nti Yingira eri omukazi wa muganda wo, omuwase nga bwe kigwanira muganda wa bba, oddizeewo muganda wo ezzadde.

9. Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde.

10. N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta.

11. Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula: kubanga yayogera nti N'oyo aleme okufa nga baganda be. Tamali n'agenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.

12. Ebiro ne biyitawo omuwala wa Suwa, omukazi wa Yuda, n'afa; Yuda n'ayabya olumbe, n'ayambuka, ye ne mukwano gwe Kira Omwadulamu, e Timuna eri basajja be abaasala endiga ebyoya.

13. Ne babuulira Tamali nti Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya.

14. N'ayambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa.

15. Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nga mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso.

16. N'akyamira gy'ali okuva mu kkubo n'ayogera nti Kale nno, nkwegayiridde, nnyingire gy'oli: kubanga teyamanya nga ye muka mwana we. N'ayogera nti Onompa ki bw'onooyingira gye ndi?

17. N'ayogera nti Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo. N'ayogera nti Onompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza?

18. N'ayogera nti Musingo ki gwe nnaakuwa? N'ayogera nti akabonero ko n’akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo. N'abimuwa, n'ayingira gy'ali, naye n'aba olubuto olulwe.

19. N'agolokoka, ne yeegendera, n'ayambulamu olw'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obunnamwandu bwe.

20. Yuda n'aweereza omwana gw'embuzi mu mukono gwa mukwano gwe Omwadulamu, okuweebwa, omusingo mu mukono gw'omukazi: naye n'atamulaba.

21. N'alyoka abuuza abasajja ab'ekifo kye nti Omwenzi ali ludda wa eyali e Nayimu ku mabbali g'ekkubo? Ne boogera nti Tewabanga wano mwenzi.

22. N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti Tewabanga wano mwenzi.

23. Yuda n'ayogera nti Agyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi: laba, naweerezza omwana ogwo ogw'embuzi, naawe n'otomulaba.

24. Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti Tamali muka mwana wo yayenda; era nate, laba, ali lubuto lwa bwenzi. Yuda n'ayogera nti Mumufulumye, bamwokye.

25. Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti Omusajja nannyini bino ye yangira olubuto: n'ayogera nti Tegeera, nkwegayiridde, bino by'ani, akabonero n'obujegere n'omuggo.

26. Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga saamuwa Seera omwana wange. N'atamumanya nate lwa kubiri.

27. Awo olwatuuka entuuko ze bwe zaatuuka okuzaala, laba, abalongo ne baba mu lubuto lwe.

28. Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze: omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti Ono ye asoose okufuluma.

29. Awo olwatuuka, bwe yazzaayo engalo, laba, muganda we n'afuluma; n'ayogera nti Kiki ekikuwaguza wekka? erinnya lye kyeryava lituumibwa Pereezi.

30. Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze: n'atuumwa erinnya Zeera.

About Olubereberye Chapter 38

Read Olubereberye Chapter 38 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 38
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 38 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 38?

Olubereberye Chapter 38 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 38 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 8
  2. Olubereberye Chapter 41
  3. Olubereberye Chapter 50
  4. Olubereberye Chapter 26
  5. Olubereberye Chapter 29
  6. Olubereberye Chapter 19
  7. Olubereberye Chapter 24

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 62
  2. Koseya Chapter 7
  3. Ezekyeri Chapter 47
  4. 1 Abasessaloniika Chapter 3
  5. Ezekyeri Chapter 28
  6. Zabbuli Chapter 50
  7. Yokaana Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *