Read Zekkaliya Chapter 12 Online
Read Zekkaliya Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zekkaliya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Zekkaliya 12
Essuula 12
1. Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti
2. Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okutagatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi.
3. Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.
4. Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.
5. N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe.
6. Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.
7. Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.
8. Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe.
9. Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi.
10. Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.
11. Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni.
12. Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
13. ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
14. ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.
About Zekkaliya Chapter 12
Read Zekkaliya Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Zekkaliya
Chapter: 12
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zekkaliya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Zekkaliya Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Zekkaliya Chapter 12?
Zekkaliya Chapter 12 is part of the Book of Zekkaliya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Zekkaliya Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from zekkaliya
- Zekkaliya Chapter 7
- Zekkaliya Chapter 10
- Zekkaliya Chapter 4
- Zekkaliya Chapter 2
- Zekkaliya Chapter 8
- Zekkaliya Chapter 5
- Zekkaliya Chapter 1