Okubala Chapter 30

For English

Read Okubala Chapter 30 Online

Read Okubala Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubala and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okubala 30

Essuula 30

1. Musa n'agamba emitwe gy'ebika by'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde.

2. Omusajja bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, oba bw'anaalayiranga ekirayiro okulagaanya obulamu bwe n'endagaano, tavumisanga kigambo kye; anaakolanga nga byonna bwe biri ebifuluma mu kamwa ke.

3. Era omukazi bw'aneeyamanga obweyamo eri Mukama, ne yeeragaanya n'endagaano, ng'ali mu nnyumba ya kitaawe, mu buto bwe;

4. kitaawe n'awulira obweyamo bwe n'endagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe, kitaawe n'amusirikira: kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gy'alagaanyizza obulamu bwe eneenyweranga.

5. Naye kitaawe bw'anaamugaananga ku lunaku lw'awulirirako; tewabangawo ku bweyamo bwe newakubadde ku ndagaano ze, ze yalagaanya obulamu bwe, eneenyweranga: era Mukama anaamusonyiwanga kubanga kitaawe yamugaana.

6. Era bw'anaabanga alina bba, obweyamo bwe nga buli ku ye, oba emimwa gye bye gyogera ng'ayanguyiriza, by'alagaanyizza obulamu bwe;

7. bba n'awulira n'amusirikira ku lunaku lw'akiwulirirako: kale obweyamo bwe bunaanyweranga, n'endagaano z'alagaanyizza obulamu bwe zinaayweranga.

8. Naye bba bw'anaamugaananga ku lunaku lw'akiwulirirako; kale anajjululanga obweyamo bwe obuli ku ye, n'emimwa gye bye gyogedde ng'ayanguyirizza, by'alagaanyizza obulamu bwe: era Mukama anaamusonyiwanga.

9. Naye obweyamo bwa nnamwandu oba bw'oyo eyagobebwa bba, buli kye yalagaanya obulamu bwe, kinaanyweranga ku ye.

10. Era oba nga yeeyamira obweyamo mu nnyumba ya bba, oba yalagaanya obulamu bwe n'endagaano ng'alayira,

11. bba n'akiwulira n'amusirikira n'atamugaana; kale obweyamo bwe bwonna bunaanyweranga, na buli ndagaano gye yalagaanya obulamu bwe eneenyweranga.

12. Naye bba oba nga yabidibya ku lunaku lwe yabiwulirirako; kale buli ekyafuluma mu mimwa gye mu bigambo by'obweyamo bwe oba mu bigambo by'endagaano y'obulamu bwe tekinyweranga: bba ng'abijjuludde; era Mukama anaamusonyiwanga.

13. Buli bweyamo na buli kirayiro eky'endagaano eky'okwebonereza obulamu bwe, bba ayinza okukinyweza, oba bba ayinza okukijjulula.

14. Naye bba bw'anaamusirikiriranga ddala bulijjo bulijjo; kale anaanywezanga obweyamo bwe bwonna, oba endagaano ze zonna eziri ku ye: ng'abinywezezza, kubanga yamusirikira ku lunaku lwe yabiwulirirako.

15. Naye bw'anaabidibyanga ng'amaze okubiwulira; kale ye anaabangako obutali butuukirivu bw'omukazi.

16. Ago ge mateeka Mukama ge yalagira Musa, wakati w'omusajja ne mukazi we, wakati wa kitaawe w'omuwala ne muwala we, ng'akyali mu buto bwe, mu nnyumba ya kitaawe.

About Okubala Chapter 30

Read Okubala Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okubala
Chapter: 30
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubala. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okubala Chapter 30 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okubala Chapter 30?

Okubala Chapter 30 is part of the Book of Okubala in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okubala Chapter 30 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Okubala

  1. Okubala Chapter 29
  2. Okubala Chapter 22
  3. Okubala Chapter 1
  4. Okubala Chapter 21
  5. Okubala Chapter 33
  6. Okubala Chapter 26
  7. Okubala Chapter 31

Related Chapters & Readings

  1. Abaebbulaniya Chapter 4
  2. Zabbuli Chapter 117
  3. Zabbuli Chapter 13
  4. Olubereberye Chapter 31
  5. 2 Bassekabaka Chapter 22
  6. 1 Abakkolinso Chapter 5
  7. Olubereberye Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *