Read Okubikkulirwa Chapter 20 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 20
Essuula 20
1. Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe.
2. N'akwata ogusota, omusota ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi,
3. n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.
4. Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi.
5. Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
6. Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.
7. Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera lye,
8. era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja.
9. Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya.
10. N'omulyolyomi eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriiti, era omuli ensolo ne nnabbi ow'obulimba; era banaabonyaabonyezebwanga emisana n'ekiro emirembe n'emirembe.
11. Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulibwa na kifo.
12. Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
13. N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
14. N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro.
15. Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.
About Okubikkulirwa Chapter 20
Read Okubikkulirwa Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 20
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 20 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 20?
Okubikkulirwa Chapter 20 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 20 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Yakobo Chapter 5
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 17
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 3
- Okubikkulirwa Chapter 8
- Okubikkulirwa Chapter 18
- Okubikkulirwa Chapter 21
- Okubikkulirwa Chapter 19
- Okubikkulirwa Chapter 4
- Okubikkulirwa Chapter 17