Read Ekyamateeka Chapter 34 Online
Read Ekyamateeka Chapter 34 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ekyamateeka 34
Essuula 34
1. Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;
2. ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega;
3. n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga eky'enkindu okutuusa ku Zowaali.
4. Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo.
5. Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
6. N'amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero.
7. Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.
8. Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa.
9. Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
10. Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng'alabagana n'amaaso:
11. mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna;
12. ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.
About Ekyamateeka Chapter 34
Read Ekyamateeka Chapter 34 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ekyamateeka
Chapter: 34
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ekyamateeka Chapter 34 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ekyamateeka Chapter 34?
Ekyamateeka Chapter 34 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 34 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Ekyamateeka
- Ekyamateeka Chapter 20
- Ekyamateeka Chapter 27
- Ekyamateeka Chapter 15
- Ekyamateeka Chapter 4
- Ekyamateeka Chapter 9
- Ekyamateeka Chapter 3
- Ekyamateeka Chapter 5
Explore More from Endagaano Enkadde
- Ezekyeri Chapter 4
- Amosi Chapter 2
- Kaabakuuku Chapter 3
- Koseya Chapter 6
- Zabbuli Chapter 87
- Nakumu Chapter 2
- Okuva Chapter 6