Read 2 Timoseewo Chapter 4 Online
Read 2 Timoseewo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Timoseewo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Timoseewo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Timoseewo 4
Essuula 4
1. Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;
2. buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.
3. Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
4. baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.
5. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.
6. Kubanga nze kaakano nfukibwa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.
7. Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye:
8. ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
9. Fuba okujja gye ndi mangu:
10. kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala emirembe egya kaakano, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke e Ggalatiya, Tito e Dalumatiya.
11. Lukka ye ali awamu nange yekka. Twala Makko, omuleete wamu naawe; kubanga angasa olw'okuweereza.
12. Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso.
13. Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba.
14. Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi: Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali:
15. oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe.
16. Mu kuwoza kwange okw'olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa.
17. Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.
18. Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19. Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo.
20. Erasuto yabeera mu Kkolinso: naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde.
21. Fuba okujja ebiro by'empewo nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna.
22. Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.
About 2 Timoseewo Chapter 4
Read 2 Timoseewo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Timoseewo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Timoseewo
Chapter: 4
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Timoseewo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Timoseewo Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Timoseewo Chapter 4?
2 Timoseewo Chapter 4 is part of the Book of 2 Timoseewo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Timoseewo Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2 Timoseewo
Explore More from Endagaano Empya
- Okubikkulirwa Chapter 21
- Okubikkulirwa Chapter 22
- 1 Timoseewo Chapter 5
- 1 Timoseewo Chapter 4
- 1 Timoseewo Chapter 6
- Matayo Chapter 7
- Ebikolwa Chapter 14