Read Abakkolosaayi Chapter 2 Online
Read Abakkolosaayi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abakkolosaayi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abakkolosaayi 2
Essuula 2
1. Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri;
2. emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo,
3. omuli obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bukwekeddwa.
4. Ekyo kye njogera nti omuntu yenna alemenga okubalimbalimba mu bigambo eby'okusendasenda.
5. Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.
6. Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye,
7. nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
8. Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo
9. kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli,
10. era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna
11. era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo;
12. bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
13. Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;
14. n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba:
15. bwe yayambulira ddala obwami n’amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo.
16. Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti:
17. ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.
18. Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe,
19. so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.
20. Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi nti
21. Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako
22. (ebyo byonna biggweerawo mu kukolebwa) okugobereranga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu?
23. Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri.
About Abakkolosaayi Chapter 2
Read Abakkolosaayi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abakkolosaayi
Chapter: 2
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abakkolosaayi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abakkolosaayi Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abakkolosaayi Chapter 2?
Abakkolosaayi Chapter 2 is part of the Book of Abakkolosaayi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abakkolosaayi Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Abakkolosaayi
Explore More from Endagaano Empya
- 1 Abakkolinso Chapter 1
- 1 Yokaana Chapter 4
- Makko Chapter 7
- Ebikolwa Chapter 8
- Matayo Chapter 15
- Lukka Chapter 8
- Yokaana Chapter 5