Okubikkulirwa Chapter 19

For English

Read Okubikkulirwa Chapter 19 Online

Read Okubikkulirwa Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okubikkulirwa 19

Essuula 19

1. Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe:

2. kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.

3. Omulundi ogw'okubiri ne boogera nti Aleruuya. N'omukka gwe gunyooka emirembe n'emirembe.

4. N'abakadde amakumi abiri mu bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atuula ku ntebe, nga boogera nti Amiina; Aleruuya.

5. N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.

6. Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.

7. Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.

8. N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu.

9. N'aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda.

10. Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.

11. Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.

12. Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.

13. Era ng'ayambadde ekyambalo ekyamansirwako omusaayi: n'erinnya lye ne liyitibwa Kigambo kya Katonda.

14. N'eggye ery'omu ggulu ne limugoberera ku mbalaasi enjeru, nga bambadde bafuta enjeru ennungi.

15. Ne mu kamwa ke muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omuggo ogw'ekyuma: era alinnya essogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna.

16. Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.

17. Ne ndaba malayika ng'ayimiride mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;

18. mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu.

19. Ne ndaba ensolo, ne bakabaka b’ensi, n'eggye lyabwe nga bakuŋŋaanye okulwana n'oyo eyali atudde ku mbalaasi n'eggye lye.

20. Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abaasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti:

21. n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.

About Okubikkulirwa Chapter 19

Read Okubikkulirwa Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okubikkulirwa
Chapter: 19
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okubikkulirwa Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okubikkulirwa Chapter 19?

Okubikkulirwa Chapter 19 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 8
  5. Ebikolwa Chapter 11
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from okubikkulirwa

  1. Okubikkulirwa Chapter 2
  2. Okubikkulirwa Chapter 7
  3. Okubikkulirwa Chapter 1
  4. Okubikkulirwa Chapter 21
  5. Okubikkulirwa Chapter 13
  6. Okubikkulirwa Chapter 20
  7. Okubikkulirwa Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Engero Chapter 13
  2. Isaaya Chapter 17
  3. Yoswa Chapter 21
  4. Zabbuli Chapter 14
  5. Zabbuli Chapter 112
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 26
  7. Koseya Chapter 13
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *