Yoswa Chapter 18

For English

Read Yoswa Chapter 18 Online

Read Yoswa Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yoswa and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yoswa 18

Essuula 18

1. N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe.

2. Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo.

3. Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?

4. Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli ne balyoka bajja gye ndi.

5. Era baligigaba ebitundu musanvu: Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.

6. Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.

7. Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.

8. Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro:

9. Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro.

10. Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali.

11. Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyamini ne kajja ng'enda zaabwe bwe zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu.

12. N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n'erinnya ku muyegooyego ogw'e Yeriko ku luuyi oiw'obukiika obwa kkono, n'erinnya mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba; n'enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw'e Besaveni.

13. Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga.

14. Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba.

15. N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n'ebuna ebugavanjuba, n'ebuna oluzzi olw'amazzi ga Nefutoa:

16. ensalo n'ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; n'ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery'omu Yebusi ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ekka ku Enerogeri;

17. n'ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n'ekoma mu Ensemesi, n'ebuna Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n'eyita n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni;

18. n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'ekka mu Alaba:

19. ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: n'enkomerero z'ensalo zaali ku kikono eky'obukiika obwa kkono eky'ennyanja ey'omunnyo, Yoludaani we gufukira: eyo ye nsalo ey'obukiika obwa ddyo.

20. Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali.

21. Era ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi;

22. ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri;

23. ne Avvimu; ne Pala, ne Ofula;

24. ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo;

25. Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi;

26. ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza;

27. ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala;

28. ne Zeera, Erefu, n'Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n'ebyalo byabyo. Obwo bwe busika obw'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.

About Yoswa Chapter 18

Read Yoswa Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yoswa
Chapter: 18
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yoswa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yoswa Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yoswa Chapter 18?

Yoswa Chapter 18 is part of the Book of Yoswa in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yoswa Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from yoswa

  1. Yoswa Chapter 10
  2. Yoswa Chapter 11
  3. Yoswa Chapter 22
  4. Yoswa Chapter 12
  5. Yoswa Chapter 13
  6. Yoswa Chapter 16
  7. Yoswa Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 29
  2. 2 Bassekabaka Chapter 10
  3. Amosi Chapter 4
  4. Ezekyeri Chapter 21
  5. Isaaya Chapter 9
  6. 1 Ebyomumirembe Chapter 18
  7. Zabbuli Chapter 6
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *