Read Olubereberye Chapter 22 Online
Read Olubereberye Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 22
Essuula 22
1. Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugamba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno.
2. N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako.
3. Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako.
4. Ku lunaku olw'okusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo.
5. Ibulayimu n'agamba abavubuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi; nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli.
6. Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu.
7. Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa?
8. Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi.
9. Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku Kyoto, ku nku.
10. Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'addira akambe okutta omwana we.
11. Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti Nze nzuuno.
12. N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.
13. Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we.
14. Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa.
15. Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu,
16. n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu:
17. okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe;
18. era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.
19. Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne bagolokoka ne bagenda bonna wamu e Beeruseba; Ibulayimu n'atuulanga mu Beeruseba.
20. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli;
21. Uzi, omubereberye we, ne Buzi, muganda we, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu;
22. ne Kesedi, ne Kaazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Bessweri.
23. Bessweri n'azaala Lebbeeka: abo omunaana Mirika yabazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu.
24. N'omuzaana we, erinnya lye Lewuma, era naye n'azaala Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.
About Olubereberye Chapter 22
Read Olubereberye Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 22
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 22?
Olubereberye Chapter 22 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 24
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 4
- Olubereberye Chapter 44
- Olubereberye Chapter 1
- Olubereberye Chapter 35
- Olubereberye Chapter 19
- Olubereberye Chapter 3
- Olubereberye Chapter 8