2 Abasessaloniika Chapter 2

For English

Read 2 Abasessaloniika Chapter 2 Online

Read 2 Abasessaloniika Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abasessaloniika in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abasessaloniika and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Abasessaloniika 2

Essuula 2

1. Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n'olw'okukuŋŋaana kwaffe gy'ali;

2. obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse;

3. omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira,

4. aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.

5. Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo?

6. Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkuke mu ntuuko ze.

7. Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.

8. Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe;

9. naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba,

10. n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke.

11. Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby'obulimba:

12. bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.

13. Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima

14. bye yabayitira n'enjiri yaffe olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.

15. Kale nno ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.

16. Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa,

17. abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi.

About 2 Abasessaloniika Chapter 2

Read 2 Abasessaloniika Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abasessaloniika in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Abasessaloniika
Chapter: 2
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abasessaloniika. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Abasessaloniika Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Abasessaloniika Chapter 2?

2 Abasessaloniika Chapter 2 is part of the Book of 2 Abasessaloniika in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Abasessaloniika Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Abasessaloniika

  1. 2 Abasessaloniika Chapter 1
  2. 2 Abasessaloniika Chapter 3

Explore More from Endagaano Empya

  1. Lukka Chapter 12
  2. 1 Yokaana Chapter 2
  3. Ebikolwa Chapter 28
  4. 2 Abakkolinso Chapter 9
  5. Abaebbulaniya Chapter 2
  6. Abaruumi Chapter 5
  7. Yokaana Chapter 21

Related Chapters & Readings

  1. Omubuulizi Chapter 5
  2. Ebyabaleevi Chapter 8
  3. Eseza Chapter 2
  4. Okubikkulirwa Chapter 7
  5. Abaggalatiya Chapter 2
  6. Yobu Chapter 32
  7. Zabbuli Chapter 41
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *