Yeremiya Chapter 14

For English

Read Yeremiya Chapter 14 Online

Read Yeremiya Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 14

Essuula 14

1. Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya ekyayogera ku kyanda bwe kiri.

2. Yuda awuubaala, n'enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.

3. N'abakungu baabwe batuma abaana baabwe abato emugga: batuuka ku binnya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.

4. Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe.

5. Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwana gwayo olw'obutabaawo muddo.

6. N'entulege ziyimirira ku nsozi ez'obweru, ziwejjerawejjera empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.

7. Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw'erinnya lyo, ai Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona.

8. Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze akyama okukeesa obudde?

9. Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati mu ffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.

10. Bw'ati Mukama bw'agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.

11. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Tosabira bantu bano baweebwe ebirungi.

12. Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.

13. Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.

14. Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Bannabi balagulira eby’obulimba mu linnya lyange: saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw'obulimba n'obulaguzi n'ekigambo ekitaliimu n'obukuusa obw'omu mutima gwabwe bo.

15. Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiriza bannabbi abo.

16. N'abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe.

17. Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini.

18. Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.

19. Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, okukeŋŋentererwa.

20. Ai Mukama, tuukiriza obubi bwaffe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: kubanga twakwonoona.

21. Totutamwa olw'erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe.

22. Mu birerya by'ab'amawanga mulimu ebiyinza okutonnyesa enkuba? oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? si ggwe wuuyo, ai Mukama Katonda waffe? kyetunaavanga tukulindirira ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.

About Yeremiya Chapter 14

Read Yeremiya Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 14
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 14?

Yeremiya Chapter 14 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 31
  2. Yeremiya Chapter 49
  3. Yeremiya Chapter 28
  4. Yeremiya Chapter 6
  5. Yeremiya Chapter 36
  6. Yeremiya Chapter 30
  7. Yeremiya Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Abaggalatiya Chapter 3
  2. Zabbuli Chapter 39
  3. 2 Bassekabaka Chapter 15
  4. 2 Samwiri Chapter 1
  5. Ezekyeri Chapter 43
  6. 2 Peetero Chapter 2
  7. Nekkemiya Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *