Read Okuva Chapter 17 Online
Read Okuva Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okuva 17
Essuula 17
1. Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe.
2. Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama?
3. Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta?
4. Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja.
5. Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende.
6. Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.
7. N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?
8. Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu.
9. Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange.
10. N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki : Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
11. Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba.
12. Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikomo gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa.
13. Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'ekitala.
14. Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjukizo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.
15. Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange:
16. n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.
About Okuva Chapter 17
Read Okuva Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okuva
Chapter: 17
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okuva Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okuva Chapter 17?
Okuva Chapter 17 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okuva Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from okuva
- Okuva Chapter 16
- Okuva Chapter 28
- Okuva Chapter 25
- Okuva Chapter 15
- Okuva Chapter 20
- Okuva Chapter 4
- Okuva Chapter 14