2 Ebyomumirembe Chapter 21

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 21 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 21

Essuula 21

1. Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.

2. Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.

3. Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.

4. Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri.

5. Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.

6. N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.

7. Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna.

8. Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.

9. Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali.

10. Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.

11. Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda.

12. Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda;

13. naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:

14. laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n'abaana bo ne bakazi bo n'ebintu byo byonna:

15. naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku.

16. Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya:

17. ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be,

18. Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Mukama n'amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka.

19. Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe.

20. Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 21

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 21?

2 Ebyomumirembe Chapter 21 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 22

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Yeremiya Chapter 31
  2. Okubala Chapter 10
  3. Isaaya Chapter 56
  4. Zabbuli Chapter 106
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 16
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 16
  7. Okubala Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 45
  2. Nekkemiya Chapter 9
  3. Nekkemiya Chapter 12
  4. Zabbuli Chapter 23
  5. Yakobo Chapter 3
  6. Isaaya Chapter 12
  7. Abaruumi Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *