Yeremiya Chapter 21

For English

Read Yeremiya Chapter 21 Online

Read Yeremiya Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 21

Essuula 21

1. Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti

2. Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni atutabaala: mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, atuveeko.

3. Awo Yeremiya n'abagamba nti Bwe muti bwe muba mugamba Zeddekiya nti

4. Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndizza ennyuma ebyokulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.

5. Nange mwene ndirwana nammwe n'engalo ezigoloddwa n'omukono ogw'amaanyi, nga ndiko obusungu n'ekiruyi n'obukambwe obungi.

6. Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n'ensolo: balifa kawumpuli mungi.

7. Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama, ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo kawumpuli n'ekitala n'enjala be byafissaawo mu kibuga muno, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talisaasira.

8. Era ogambanga abantu bano nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.

9. Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali.

10. Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama: kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikyokya omuliro.

11. N'eby'ennyumba ya kabaka wa Yuda, muwulire ekigambo kya Mukama:

12. Mmwe ennyumba ya Dawudi, bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango enkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okutambula ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.

13. Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti Ani aliserengeta okututabaala? oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?

14. era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama: era ndikumira omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.

About Yeremiya Chapter 21

Read Yeremiya Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 21?

Yeremiya Chapter 21 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 17
  2. Yeremiya Chapter 1
  3. Yeremiya Chapter 52
  4. Yeremiya Chapter 7
  5. Yeremiya Chapter 36
  6. Yeremiya Chapter 25
  7. Yeremiya Chapter 9

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 10
  2. 2 Abakkolinso Chapter 7
  3. Ekyabalamuzi Chapter 6
  4. Ekyamateeka Chapter 29
  5. Isaaya Chapter 39
  6. 1 Abakkolinso Chapter 13
  7. Ebyabaleevi Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *