Read Yakobo Chapter 4 Online
Read Yakobo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yakobo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yakobo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yakobo 4
Essuula 4
1. Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?
2. Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, ao temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.
3. Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi; mulyoke mubikoze okwegomba kwammwe.
4. Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda.
5. Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere? Omwoyo gwe yatuuza mu ffe gwegomba okuleeta obuggya?
6. Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
7. Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.
8. Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
9. Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala.
10. Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11. Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango mateeka: nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.
12. Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza, naye ggwe asalira omusango munno ggwe ani?
13. Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba:
14. naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo:
15. we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.
16. Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.
17. Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.
About Yakobo Chapter 4
Read Yakobo Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yakobo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yakobo
Chapter: 4
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yakobo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yakobo Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yakobo Chapter 4?
Yakobo Chapter 4 is part of the Book of Yakobo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yakobo Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
Explore More from yakobo
- Yakobo Chapter 5
- Yakobo Chapter 2
- Yakobo Chapter 1
- Yakobo Chapter 4
- Yakobo Chapter 3
- Yakobo Chapter 1
- Yakobo Chapter 3