Olubereberye Chapter 5

For English

Read Olubereberye Chapter 5 Online

Read Olubereberye Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 5

Essuula 5

1. Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera;

2. omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu.

3. Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi:

4. ennaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.

5. Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa.

6. Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi.

7. Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala;

8. ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa.

9. Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani:

10. Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

11. ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka lwenda mu etaano; n'afa.

12. Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri:

13. Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri emyaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

14. ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa.

15. Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi:

16. Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

17. ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa.

18. Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka;

19. Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

20. ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri; n'afa.

21. Enoka n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Mesuseera:

22. Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

23. ennaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano:

24. Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.

25. Mesuseera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n’azaala Lameka:

26. Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusanvu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulelizi n'ab'obuwala:

27. ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa.

28. Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi:

29. n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gwaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira.

30. Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala:

31. ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa.

32. Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.

About Olubereberye Chapter 5

Read Olubereberye Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 5
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 5?

Olubereberye Chapter 5 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 25
  3. Engero Chapter 22
  4. Engero Chapter 19
  5. Engero Chapter 23
  6. Engero Chapter 28
  7. Engero Chapter 24

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 16
  2. Olubereberye Chapter 21
  3. Olubereberye Chapter 25
  4. Olubereberye Chapter 45
  5. Olubereberye Chapter 11
  6. Olubereberye Chapter 49
  7. Olubereberye Chapter 39

Related Chapters & Readings

  1. Okuva Chapter 10
  2. 1 Ebyomumirembe Chapter 13
  3. Ekyamateeka Chapter 15
  4. Yeremiya Chapter 10
  5. Zabbuli Chapter 29
  6. 1 Peetero Chapter 3
  7. Abaruumi Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *